Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the third month after the Israelites left Egypt, on that same day, they came to the Sinai wilderness. Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi.
2 They left Rephidim, reached the wilderness of Sinai, and camped there; Israel camped facing the mountain. Kubanga baali basitudde okuva mu Lefidimu ne bayingira Eddungu lya Sinaayi. Abayisirayiri ne basimba eweema zaabwe mu ddungu omwo mu maaso g’olusozi Sinaayi.
3 Moses went up to our Father, and our Father called to him from the mountain, saying, "Say this to the house of Jacob, tell the Israelites: Awo Musa n’ayambuka eri Katonda; Mukama n’amuyita ng’asinziira ku lusozi ng’agamba nti, “Bino by’onoogamba ennyumba ya Yakobo, by’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti,
4 You have seen what I did to Egypt, how I carried you on eagles' wings and brought you to myself. ‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu n’embeereetera gye ndi.
5 Now, if you truly obey my voice and keep my covenant, you will be my treasured possession out of all peoples—for the whole earth is mine. Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange.
6 You will be my kingdom of priests, a holy nation. These are the words you must speak to the Israelites." Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”
7 Moses came, called the people's elders, and set before them all the words our Father had commanded him. Awo Musa n’akomawo, n’ayita abakulembeze b’abantu n’abategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira.
8 All the people answered together, "We will do everything our Father has said." Moses brought their words back to our Father. Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza Mukama ng’abantu bwe baayogera.
9 Our Father told Moses, "I am coming to you in a thick cloud, so the people hear when I speak with you, and trust you forever." Then Moses reported the people's words to our Father. Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa n’ategeeza Mukama abantu bye baayogera.
10 Our Father said to Moses, "Go to the people, dedicate them today and tomorrow; have them wash their clothes. Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero n’enkya. Bagambe booze engoye zaabwe,
11 Be ready by the third day, for on it I will come down on Mount Sinai before all the people's eyes. ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo Mukama alikka ku lusozi Sinaayi ng’Abayisirayiri bonna balaba.
12 Mark off a boundary for the people all around, saying, 'Be careful not to go up on the mountain or touch its edge. Whoever touches the mountain will certainly be put to death.' Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa.
13 No hand may touch him—he must be stoned or shot with an arrow. Whether animal or human, he must die. When the ram's horn sounds long, they may go up the mountain." Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, n’ebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi.”
14 Moses came down from the mountain to the people, consecrated them, and they washed their clothes. Awo Musa n’ava ku lusozi n’aserengeta eri abantu, n’abatukuza ne bayoza engoye zaabwe.
15 And he said to the people, "Be ready for the third day; have no sexual relations." N’abagamba nti, “Mwetegekere olunaku olwokusatu, ne bakyala bammwe temubasemberera.”
16 On the third morning, thunder and lightning came, a thick cloud covered the mountain, and a very loud trumpet blast made all the camp's people tremble. Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana.
17 Moses led the people out of the camp to meet our Father, and they stood at the foot of the mountain. Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi.
18 Mount Sinai was all smoke, because our Father descended on it in fire. Smoke rose like smoke from a furnace, and the whole mountain shook violently. Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
19 As the trumpet sound grew louder and louder, Moses spoke, and our Father answered him in thunder. Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka.
20 Our Father came down on Mount Sinai, to the mountaintop, and our Father called Moses up to the mountaintop; Moses went up. Awo Mukama n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Mukama n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya.
21 And our Father said to Moses, "Go down and warn the people not to break through to look at me, or many will die. Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira.
22 Priests who come near me must also dedicate themselves, or I may break out against them." Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”
23 Moses said to our Father, "The people can't come up to Mount Sinai, for you yourself warned us, saying, 'Set limits around the mountain and dedicate it.'" Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”
24 And our Father said to him, "Go down, then come up with Aaron. Don't let the priests and the people break through to come up to me, or I will break out against them." Mukama n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”
25 So Moses went down to the people and told them. Bw’atyo Musa n’aserengeta mu bantu n’abategeeza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]