Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father spoke all these words: Awo Katonda n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:
2 "I am your Father, who brought you out of Egypt's land, out of the house of slavery. “Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
3 "Do not have any other gods before me. “Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
4 "Do not make yourself a carved image, or any likeness of what's in the heavens above, on earth below, or in water under the earth. Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
5 Do not bow down to them or serve them; I, your Father, am a jealous Father, bringing the parents' sin down on children to the third and fourth generation of those who hate me, Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.
6 but showing covenant love to thousands of those who love me and keep my commandments. Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
7 "Do not take your Father's name in vain, for our Father will not hold guiltless anyone who takes his name in vain. Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
8 "Remember the Sabbath day, to keep it holy. Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga.
9 Six days you shall labor and do all your work, Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga,
10 but the seventh day is a Sabbath to your Father. Do no work on it—you, your son, your daughter, your male or female servant, your livestock, or the foreigner within your gates. naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.
11 For in six days our Father made the heavens, the earth, the sea, and all in them, then rested the seventh day; so our Father blessed the Sabbath day and made it holy. Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
12 "Honor your father and your mother, so your days are long in the land your Father is giving you. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
13 "Do not murder. Tottanga.
14 "Do not commit adultery. Toyendanga.
15 "Do not steal. Tobbanga.
16 "Do not give false testimony against your neighbor. Towaayirizanga muntu munno.
17 "Do not crave your neighbor's house. Do not crave your neighbor's wife, his male or female servant, his ox or donkey, or anything that is your neighbor's." Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
18 All the people saw the thunder, the lightning flashes, the trumpet blast, and the mountain smoking. Seeing it, they trembled and stood at a distance. Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako,
19 They said to Moses, "You speak with us, and we'll listen. But don't let our Father speak with us, or we'll die." ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”
20 Moses said to the people, "Do not be afraid; our Father has come to test you, so his fear will remain with you, and you will not sin." Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”
21 The people stayed back, while Moses approached the thick darkness where our Father was. Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali.
22 Then our Father said to Moses, "Tell the Israelites: You have seen for yourselves that I have spoken with you from heaven. Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu.
23 Do not make gods of silver to be alongside me, nor make for yourselves gods of gold. Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.
24 Make me an altar of earth, and on it sacrifice your burnt and peace offerings, your flocks and herds. Wherever I have my name remembered, I will come to you and bless you. “ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa.
25 If you make me an altar of stone, do not build it of cut stones, for wielding your tool on it desecrates it. Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange.
26 Do not go up steps to my altar, so your nakedness isn't exposed on it." Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]