Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Now these are the regulations you are to set before them: Amateeka gano gabategeeze nti:
2 "When you buy a Hebrew servant, he serves six years; in the seventh he goes free, paying nothing. “Bw’ogulanga omuddu Omwebbulaniya, akuweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu omuddizanga eddembe lye n’agenda, era talisasuliranga.
3 "If he came in alone, he goes out alone; if married, his wife goes out with him. Bw’aba nga yajja yekka, era agendanga yekka; naye bw’aba nga yajja ne mukazi we, era agendanga naye.
4 If his master gives him a wife and she bears him sons or daughters, the wife and children belong to her master, and he goes out alone. Mukama we bw’abanga amuwadde omukazi, n’amuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala; omukazi n’abaana babanga ba mukama wa muddu oyo; omusajja yekka ye yaddizibwanga eddembe lye.
5 But if the servant clearly says, 'I love my master, my wife, and my children; I will not go out free,' Naye omuddu bw’agambanga nti, ‘Nze mukama wange mmwagala, ne mukazi wange n’abaana bange bonna mbagala, era seetaaga ddembe,’
6 then his master brings him before our Father, then to the door or doorpost, and pierces his ear with an awl; he serves him for life. mukama we amutwalanga eri abalamuzi, amuleetanga ku luggi oba ku mwango gw’oluggi, n’amuwummula okutu n’olukato. Olwo anaamuweerezanga okutuusa okufa.
7 "When a man sells his daughter as a servant, she is not to go free as the male servants do. “Omusajja bw’anaatundanga omwana we owoobuwala ng’omuddu, omuwala oyo taddizibwenga ddembe ng’omuddu omusajja.
8 If she does not please her master who chose her for himself, he must let her be redeemed. He may not sell her to a foreign people, since he has broken faith with her. Bw’ataasanyusenga mukama we eyamugula, anaayinzanga okununulibwa. Kyokka mukama we taabenga na buyinza kumutunda mu bannamawanga, kubanga mukama we yanaabanga amukuusizakuusiza okumala okumuwasa ate n’amwegobako.
9 If he designates her for his son, he is to treat her as a daughter. Singa amugabira mutabani we, olwo anaabanga ng’omu ku bawala be.
10 If he takes another wife, he must not reduce her food, her clothing, or her marital rights. Singa amuwasizaako omukazi omulala, mukama we taamuggyengako mmere ye oba engoye ze, wadde ebimukwatako byonna eby’obufumbo.
11 If he does not provide these three things, she goes free, without payment of money. Ebintu ebyo ebisatu singa abimumma, omuwala omuddu anaayinzanga okuleka mukama we n’amuvaako awatali kusasulirwa.
12 "Whoever strikes a man so that he dies is to be put to death. “Anaakubanga omuntu n’amutta, naye ateekwa buteekwa okuttibwa.
13 But if he did not lie in wait and I let it happen, I will appoint a place for you where he may flee. Kyokka singa akikola nga tagenderedde, naye Katonda n’akikkiriza okubaawo, anaddukanga ne yeekweka mu kifo kye ndibateekerateekera.
14 But if a man plots against his neighbor to kill him by treachery, take him from my altar to die. Naye singa omuntu anaasalanga olukwe n’alumba munne n’amutta mu bugenderevu, bw’anaabanga ku kyoto kyange, mumusikangako ne mumutwala ne mumutta.
15 "Whoever strikes his father or his mother is to be put to death. “Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.
16 "Whoever kidnaps a man and sells him, or is caught still holding him, must be put to death. “Oyo awambanga omuntu n’amutunda oba n’akwatibwa naye nga tannamutunda attibwanga buttibwa.
17 "Whoever curses his father or his mother is to be put to death. “Anaakolimiranga kitaawe oba nnyina ateekwa kuttibwa.
18 "When men quarrel and one hits the other with a stone or fist, and the man does not die but is bedridden, “Abantu singa bayomba ne balwana, omu n’akuba munne ejjinja oba ekikonde, n’atafa wabula n’abeera ku kitanda;
19 then if he gets up and walks outside with his staff, the one who struck him goes unpunished; he must only pay for lost time and for his full recovery. singa ava ku kitanda, n’atandika n’okutambulako ebweru n’omuggo gwe, oli eyamukuba taavunaanibwenga; wabula anaasasuliranga ebiseera by’oyo gwe yakuba, era n’amujjanjaba okutuusa ng’awonedde ddala.
20 "When a man strikes his male or female servant with a rod and the servant dies, he must be avenged. “Omuntu bw’anaakubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi n’omuggo, omuddu oyo emiggo ne gimutta, omusajja oyo anaabonerezebwanga;
21 But if he survives a day or two, no vengeance is taken, for the servant is his property. naye omuddu oyo bw’anaalamanga okumala olunaku oba ennaku ebbiri, mukama we taabonerezebwenga, kubanga ye nannyini ye.
22 "When men fight and strike a pregnant woman so that her child is born, but there is no further harm, the offender must be fined whatever the woman's husband demands, and pay as the judges decide. “Singa abantu babadde balwana, ne bakubiramu omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, kyokka n’atabaako mutawaana mulala gwonna, oyo amukubye anaatanzibwanga omutango bba w’omukazi gw’anaasalanga, era nga n’abalamuzi bagukkirizza.
23 But if there is further harm, then you are to give life for life, Naye singa omukazi oyo abaako omutawaana ogw’amaanyi, ekibonerezo kineenkanaakananga n’ekyo ky’amukoze. Bw’anattanga anattibwanga,
24 eye for eye, tooth for tooth, hand for hand, foot for foot, bw’anaaggyangamu eriiso lya munne, n’erirye banaaligyangamu, oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu, bw’anaamutemangako omukono, n’ogugwe banaagutemangako, bw’anaamutemangako ekigere, n’ekikye banaakitemangako,
25 burn for burn, wound for wound, bruise for bruise. bw’anaamwokyanga, naye anaayokebwanga, bw’anaamussangako ekiwundu, naye anaassibwangako ekiwundu, bw’anaamunuubulanga, naye anaanuubulwanga.
26 "If a man strikes the eye of his male or female servant and destroys it, he must free the servant to compensate for the eye. “Omuntu bw’akubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amuggyamu eriiso, anaamuddizanga eddembe lye n’amuleka n’agenda, nga kwe kumuliyira olw’eriiso eryo.
27 If he knocks out his male or female servant's tooth, he must let them go free to compensate for the tooth. Singa akuba omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amukuulamu erinnyo, anaamuddizanga eddembe lye, nga kwe kumuliyira olw’erinnyo eryo.
28 "If an ox gores a man or woman to death, it must be stoned and its meat not eaten, but its owner is not liable. “Singa ente ya seddume etomera omusajja oba omukazi n’emutta, seddume eyo eteekwa okukubwanga amayinja n’efa, n’ennyama yaayo teriibwanga. Kyokka nannyini yo taabengako musango.
29 But if the ox was in the habit of goring and its owner was warned but did not pen it, and it kills a man or woman, the ox is stoned and its owner also is put to death. Naye seddume eyo singa emanyiddwa nga bulijjo ntomezi, era nga ne nannyini yo yalabulwako dda, kyokka n’atagisibira mu lugo lwayo, n’etta omusajja oba omukazi, eneekubwanga amayinja n’efa, ne nannyini yo anattibwanga.
30 If a ransom is required, he must pay whatever is demanded to spare his life. Naye singa asalirwa engassi, aneenunulanga n’awona okufa ng’asasuddeyo kyonna ekinaabanga kimusaliddwa.
31 Whether it gores a son or daughter, this same rule applies. Seddume bw’eneetomeranga mutabani w’omuntu oba muwala we, etteeka lye limu eryo lye linaakozesebwanga.
32 If the ox gores a male or female servant, the owner pays their master about twelve ounces of silver, and the ox is stoned. Seddume bw’etomeranga omuddu omusajja oba omuddu omukazi, nannyini yo ateekwa okusasula mukama w’omuddu oyo, ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, ne seddume ekubwenga amayinja efe.
33 "If a man opens or digs a pit and leaves it uncovered, and an ox or donkey falls in, “Omuntu bw’anaabikkulanga ekinnya n’akireka nga kyasamye, oba bw’anaasimanga ekinnya n’atakisaanikirako, seddume n’ekigwamu oba endogoyi,
34 the pit's owner must make it good, paying its owner money, and the dead animal is his. nannyini kinnya anaasasuliranga okufiirwa okwo; anaasasulanga nannyini nsolo efudde, era n’okugitwala anaagitwalanga.
35 "When one man's ox injures another's so it dies, they sell the live ox, split the price, and split the dead animal too. “Seddume y’omuntu bw’eneerumyanga seddume y’omulala, n’emala egitta; banaatundanga seddume ennamu, ensimbi ne bazigabana; ne seddume enfu nayo banaagigabananga.
36 But if it was known the ox gored habitually and its owner did not keep it in, he must repay ox for ox, and the dead animal is his." Oba singa seddume eyo ng’emanyiddwa nga ntomezitomezi, naye nannyini yo nga tagiggalira mu lugo lwayo, ateekwa asasule seddume olwa seddume, yo enfu eneebanga yiye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]