Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 11 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okuttibwa kw’Abaana Abamisiri Ababereberye

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize. 2Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu.” 3Mukama n’aleetera Abamisiri okukwanagana n’abaana ba Isirayiri; ne Musa n’aweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi y’e Misiri. Abakungu ba Falaawo n’abantu bonna ne bamugulumiza nnyo.

4Awo Musa n’agamba Falaawo nti, “Mukama agambye bw’ati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna. 5Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo. 6Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana. 7Naye mu baana ba Isirayiri n’embwa teribaayo gw’eboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri n’Abayisirayiri tabayisa bumu.’ 8Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo.

9Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza by’omugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.” 10Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]