Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Moses, "One more plague I will bring on Pharaoh and on Egypt. After that he will send you out from here; when he does, he will drive you out completely. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize.
2 Tell the people: let each man ask his neighbor, each woman her neighbor, for silver and gold objects." Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu.”
3 And our Father gave the people favor with the Egyptians. Moreover, Moses himself was very great in the land of Egypt, in the eyes of Pharaoh's servants and the people. Mukama n’aleetera Abamisiri okukwanagana n’abaana ba Isirayiri; ne Musa n’aweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi y’e Misiri. Abakungu ba Falaawo n’abantu bonna ne bamugulumiza nnyo.
4 Moses said, "This is what our Father says: Around midnight I will go through Egypt, Awo Musa n’agamba Falaawo nti, “Mukama agambye bw’ati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna.
5 "and every firstborn in the land of Egypt will die, from Pharaoh's firstborn who sits on his throne to the slave girl's firstborn behind the millstones, and every firstborn animal. Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo.
6 A great cry will fill all the land of Egypt, unlike any before or since. Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana.
7 But not even a dog will growl at any of Israel's people, man or animal, so you'll know our Father distinguishes Egypt from Israel. Naye mu baana ba Isirayiri n’embwa teribaayo gw’eboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri n’Abayisirayiri tabayisa bumu.’
8 All these servants of yours will come down to me, bow before me, and say, 'Go, you and all the people who follow you.' After that I will go out." Then Moses left Pharaoh in burning anger. Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo.
9 Our Father said to Moses, "Pharaoh will not listen to you, so my wonders multiply in the land of Egypt." Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza by’omugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.”
10 Moses and Aaron performed all these wonders before Pharaoh, but our Father hardened Pharaoh's heart, and he refused to send the Israelites from his land. Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]