Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 34 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okufa kwa Musa mu nsi ya Mowaabu

1Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, 2ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba, 3ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali. 4Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”

5Awo Musa, omuweereza wa Mukama, n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali. 6Mukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero. 7Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko. 8Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.

9Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.

10Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso. 11Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, 12era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]