Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But Saul, still breathing threats and murder against the Lord's disciples, went to the high priest, Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu,
2 and asked him for letters to Damascus's synagogues, so that if he found any of the Way, men or women, he could bring them bound to Jerusalem. n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.
3 As he traveled and was approaching Damascus, suddenly a light from heaven flashed around him. Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola.
4 He fell to the ground and heard a voice saying, "Saul, Saul, why are you persecuting me?" N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
5 He said, "Who are you, Lord?" And he said, "I am Jesus, whom you are persecuting. Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya!
6 But rise and enter the city, and you will be told what you must do." Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
7 The men traveling with him stood speechless, hearing the voice but seeing no one. Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera.
8 Saul got up from the ground, but with eyes open he saw nothing; they led him by the hand and brought him into Damascus. Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko.
9 He was blind for three days and neither ate nor drank. N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
10 A disciple named Ananias lived in Damascus. In a vision the Lord said, "Ananias." He answered, "Here I am, Lord." Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!” N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 The Lord said to him, "Get up, go to the street called Straight, and look in Judas's house for a man from Tarsus named Saul—he is praying, Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga
12 and in a vision has seen a man named Ananias come in and place his hands on him so he may see again." mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 Ananias replied, "Lord, many have told me about this man—the harm he's done your holy ones in Jerusalem. Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi.
14 And here he has authority from the chief priests to bind all who call on your name." Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 But the Lord said to him, "Go, for this man is my chosen instrument to carry my name before nations, kings, and Israel's people. Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.”
16 For I will show him how much he must suffer for the sake of my name." Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 Ananias went and entered the house. He laid hands on Saul and said, "Brother Saul, the Lord Jesus—who appeared to you on the road you traveled—sent me so you may see again and be filled with the Holy Spirit." Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.”
18 Immediately something like scales fell from his eyes, and he could see again. He got up and was baptized, Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa.
19 and after eating, he regained his strength. For some days he was with the disciples in Damascus, N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 and immediately he began proclaiming Jesus in the synagogues, that he is the Son of our Father. Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda.
21 All who heard were amazed and said, "Isn't this the man who caused such havoc in Jerusalem among those calling on this name? And hasn't he come here for this: to bring them bound before the chief priests?" Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.”
22 But Saul grew stronger still, bewildering the Jews living in Damascus by proving this one is the Christ. Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
23 After many days had passed, the Jews plotted to kill him, Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta.
24 but Saul learned of their plot; they watched the gates day and night to kill him, Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule.
25 but at night his disciples lowered him through the wall in a basket. Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
26 Arriving in Jerusalem, he tried to join the disciples, but all feared him, not believing he was a disciple. Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza.
27 But Barnabas took him to the apostles and explained how Saul had seen the Lord on the road, who spoke to him, and how in Damascus he had spoken boldly in Jesus' name. Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu.
28 So he was with them, moving freely about Jerusalem, speaking boldly in the name of the Lord. Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe.
29 He spoke and debated with the Hellenists, but they were seeking to kill him. Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta.
30 When the brothers learned this, they brought him down to Caesarea and sent him off to Tarsus. Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
31 So the church throughout Judea, Galilee, and Samaria had peace and was strengthened; walking in the fear of the Lord and comforted by the Holy Spirit, it multiplied in number. Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
32 As Peter traveled among all the believers, he also went down to the holy ones living in Lydda. Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda.
33 There he found a man named Aeneas, bedridden for eight years, who was paralyzed. Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde.
34 Peter said to him, "Aeneas, Jesus Christ heals you. Get up, make your bed." He got up at once. Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa.
35 And all who lived in Lydda and Sharon saw him, and they turned to the Lord. Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.
36 In Joppa lived a disciple named Tabitha, meaning Dorcas. She was full of good works and help for the poor. Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu.
37 In those days she got sick and died; they washed her and laid her in an upstairs room. Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu.
38 Since Lydda was near Joppa, disciples who heard Peter was there sent two men to him, urging, "Don't delay coming to us." Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.
39 So Peter got up and went with them. When he arrived, they brought him to the upper room. All the widows stood beside him crying, showing the tunics and cloaks Dorcas had made while with them. N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.
40 Peter sent everyone out, knelt, and prayed. Turning to the body, he said, "Tabitha, get up." She opened her eyes, saw Peter, and sat up. Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula.
41 Giving her his hand, he raised her up. Calling the holy ones and the widows, he presented her alive. Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu.
42 And it became known throughout all Joppa, and many believed in the Lord. Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama.
43 And he stayed in Joppa for many days with a man named Simon, a tanner. Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]