Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Saul approved of Stephen's killing. That day a great persecution erupted against the Jerusalem church, scattering everyone except the apostles through Judea and Samaria. Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi. Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.
2 Devout men buried Stephen and mourned loudly over him. Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi.
3 But Saul was destroying the church, entering house after house, dragging off men and women, throwing them in prison. Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
4 So those scattered went everywhere, proclaiming the good news of the word. Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu.
5 Philip went down to the city of Samaria and proclaimed Christ to them. Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo.
6 The crowds paid attention together to Philip's words, hearing and seeing the signs he did. Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola.
7 Unclean spirits came out of many who were possessed, screaming loudly, and many paralyzed and lame were healed. Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa;
8 So there was great joy in that city. ekibuga ne kijjula essanyu.
9 A man named Simon had already practiced magic in that city, amazing Samaria's people and claiming to be someone great. Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa.
10 Everyone, from least to greatest, listened to him, saying, "This man is God's power, called Great." Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ”
11 They paid attention to him because for a long time he had amazed them with his magic. Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga.
12 But when they believed Philip's good news about the kingdom of our Father and the name of Jesus Christ, men and women were baptized. Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa.
13 Simon himself believed, was baptized, and stayed close to Philip, amazed at the signs and great miracles he saw. Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
14 When the apostles in Jerusalem heard Samaria had received our Father's word, they sent Peter and John to them. Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.
15 When they arrived, they prayed for them that they might receive the Holy Spirit, Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu,
16 for the Holy Spirit had not yet fallen on any of them; they were only baptized into the name of the Lord Jesus. kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka.
17 Then they laid their hands on them, and they received the Holy Spirit. Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
18 When Simon saw the Spirit given through the apostles' laying on of hands, he offered them money, Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo.
19 saying, "Give me this power too, so whoever I lay hands on receives the Holy Spirit." N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
20 Peter said to him, "May your silver perish with you, since you thought you could buy our Father's gift with money! Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi.
21 You have no part or share in this matter, for your heart is not right before our Father. Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda.
22 So turn from this evil, and pray to our Father that, if possible, your heart's intent may be forgiven you. Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi.
23 I see you poisoned by bitterness and bound by evil." Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
24 Simon answered, "Pray to God for me, that nothing you have said may come upon me." Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
25 So, having testified and spoken our Lord Jesus's word, they returned to Jerusalem, preaching the good news in many Samaritan villages. Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
26 Then an angel of our Father told Philip, "Get up and go south to the road going down from Jerusalem to Gaza"—a desert road. Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.”
27 He got up and went. There was an Ethiopian eunuch, a court official of Candace, queen of the Ethiopians, in charge of all her treasury, who had come to Jerusalem to worship, Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu.
28 and was returning, seated in his chariot and reading the prophet Isaiah. Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya.
29 And the Holy Spirit said to Philip, "Go over and catch up with that chariot." Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Philip ran up, heard him reading the prophet Isaiah, and asked, "Do you understand what you're reading?" Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 He said, "How can I, unless someone guides me?" and invited Philip up to sit with him. Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Now the passage of Scripture he was reading was this: "Like a sheep he was led to the slaughter, and like a lamb silent before its shearer, so he did not open his mouth. Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti: “Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa. Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya, naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 In his humiliation justice was denied him. Who can describe his generation? For his life is taken away from the earth." Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya. Ani alyogera ku bazzukulu be? Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 The eunuch said to Philip, "Tell me, of whom does the prophet say this—himself, or someone else?" Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?”
35 Philip opened his mouth and, starting from this Scripture, told him the good news about Jesus. Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 Traveling the road, they reached water, and the eunuch said, "Look, water! What stops me from being baptized?" Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?”
37 Not in this edition Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.”
38 He ordered the chariot to stop; both went down into the water, Philip and the eunuch, and Philip baptized him. Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza.
39 When they came up out of the water, the Spirit of our Father snatched Philip away; the eunuch never saw him again, but went on his way rejoicing. Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu.
40 Philip found himself at Azotus. He traveled through, announcing the good news in every town until he reached Caesarea. Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]