1Then the high priest asked, "Are these things true?"OLCBAwo Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”
2Stephen said, "Brothers and fathers, listen: Our Father of glory appeared to our father Abraham in Mesopotamia, before he lived in Haran,OLCBSuteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani.
3and told him, 'Leave your land and relatives, and go to the land I'll show you.'OLCBN’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’
4He left the Babylonians' land and settled in Haran. After his father died, our Father moved him from there into this land you now live in.OLCB“Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano.
5He gave him no inheritance in it, not even a foot of ground—yet promised it to him and his descendants after him as a possession, though he had no child.OLCBNaye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana!
6And our Father said his offspring would be foreigners in a land not their own, enslaved and mistreated 400 years.OLCBKatonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina.
7'I will judge the nation they serve,' our Father said, 'and after, they will come out and worship me in this place.'OLCBEra Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’
8He gave him the covenant of circumcision. Abraham fathered Isaac and circumcised him on the eighth day; Isaac fathered Jacob, and Jacob the twelve ancestors.OLCBEra n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.
9The ancestors, jealous of Joseph, sold him into Egypt, but our Father was with him,OLCB“Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye,
10and rescued him from all his troubles, gave him favor and wisdom before Pharaoh king of Egypt, who made him ruler over Egypt and Pharaoh's whole household.OLCBn’amuwonya mu kubonaabona kwonna era n’amuwa ekisa n’amagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Falaawo n’amuwa okufuga Misiri yonna era n’amukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.
11A famine and great suffering struck all Egypt and Canaan, and our fathers found no food.OLCB“Awo enjala n’egwa mu Misiri yonna ne mu nsi ya Kanani, n’ereetera bajjajjaffe okubonaabona ennyo kubanga baali tebalina we baggya mmere.
12Hearing there was grain in Egypt, Jacob sent our fathers there first.OLCBYakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo eŋŋaano n’atumayo bajjajjaffe, omulundi gwabwe ogwasooka.
13On the second visit, Joseph made himself known to his brothers, and Pharaoh learned of Joseph's family.OLCBKu mulundi ogwokubiri Yusufu ne yeeyanjulira baganda be era n’ayanjulira Falaawo baganda be.
14And Joseph sent for his father Jacob and all his relatives, seventy-five persons in all.OLCBBw’atyo Yusufu n’atumya kitaawe, Yakobo, era n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna be bantu nsanvu mu bataano.
15And Jacob went down into Egypt, and he died, he and our fathers.OLCBBw’atyo Yakobo n’ajja e Misiri era n’afiira eyo ne bajjajjaffe.
16They were taken back to Shechem, and buried in the tomb Abraham had bought for silver from Hamor's sons in Shechem.OLCBOluvannyuma baaleetebwa e Sekemu mu ntaana Ibulayimu gye yali aguze omuwendo gw’effeeza, ku batabani ba Kamoli mu Sekemu.
17As the time of the promise our Father gave Abraham neared, the people grew and multiplied in Egypt,OLCB“Ekiseera ky’ekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri.
18until there arose over Egypt another king who did not know Joseph.OLCBAwo kabaka omulala eyali tamanyi Yusufu n’atandika okufuga Misiri.
19This king exploited our people and mistreated our fathers, forcing them to abandon their infants to die.OLCBKabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.
20At that time Moses was born, beautiful in our Father's sight. He was raised three months in his father's house.OLCB“Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu.
21And when he was abandoned, Pharaoh's daughter adopted him and brought him up as her own son.OLCBBwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo n’amulonda n’amutwala n’amulera nga mutabani we.
22Moses was trained in all Egyptian wisdom, and was strong in speech and action.OLCBMusa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.
23When he was forty years old, he decided to visit his brothers, the sons of Israel.OLCB“Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri.
24Seeing one of them wronged, he defended the oppressed man and avenged him by striking down the Egyptian.OLCBN’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa.
25He thought his brothers would understand our Father was giving them salvation through his hand, but they didn't understand.OLCBMusa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera.
26The next day he came upon them as they were fighting and tried to reconcile them, saying, 'Men, you are brothers. Why do you wrong each other?'OLCBOlunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
27But the man wronging his neighbor shoved Moses aside, saying, 'Who made you ruler and judge over us?OLCB“Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe?
28Do you want to kill me as you killed the Egyptian yesterday?'OLCBOyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’
29At this word, Moses fled and lived as a foreigner in the land of Midian, where he fathered two sons.OLCBMusa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.
30Forty years later, an angel appeared to him in the wilderness of Mount Sinai, in a burning bush's flame.OLCB“Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka.
31Moses saw it and was amazed; as he approached to look closer, our Father's voice came:OLCBMusa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti,
32'I am the God of your fathers—the God of Abraham, Isaac, and Jacob.' Moses trembled, not daring to look.OLCB‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.
33Then our Father told him, 'Take the sandals off your feet, for the place you're standing on is holy ground.'OLCB“Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.
34I have indeed seen my people's suffering in Egypt, heard their groaning, and come down to rescue them. Now go—I'm sending you to Egypt.OLCBNdabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’
35This Moses, whom they rejected, saying, 'Who made you ruler and judge?'—this is the one our Father sent as both ruler and redeemer, through the hand of the angel who appeared to him in the bush.OLCB“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe.
36This man led them out, doing wonders and signs in the land of Egypt, at the Red Sea, and in the wilderness for forty years.OLCBOyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu, n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
37This is the Moses who told Israel's sons, 'Our Father will raise up a prophet like me for you, from your brothers.'OLCB“Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’
38This is the one who was in the wilderness assembly with the angel speaking to him at Mount Sinai, and with our fathers—he received living words to give us.OLCBEra Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.
39Our fathers refused to obey him; they rejected him and in their hearts turned back to Egypt,OLCB“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri.
40telling Aaron, 'Make us gods to go ahead of us. As for this Moses who led us out of the land of Egypt, we don't know what happened to him.'OLCBNe bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’
41They made a calf in those days, offered a sacrifice to the idol, and celebrated what their hands had made.OLCBMu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe.
42But our Father turned away, giving them over to worship the host of heaven, as written in the prophets' book: 'Did you bring me slaughtered animals and sacrifices for forty years in the wilderness, house of Israel?OLCBAwo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti, “ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
43You carried Moloch's tent and your god Rephan's star, the idols you fashioned to worship them; so I will banish you far beyond Babylon.'OLCBMuzimbye essabo lya Moloki, ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani, nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze. Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.
44Our ancestors had the tent of witness in the wilderness, as he who spoke to Moses directed him to make it, matching the pattern he'd seen.OLCB“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga.
45Our fathers in turn brought it in with Joshua when they dispossessed the nations that our Father drove out before them. So it was until the days of David,OLCBBajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi.
46who found favor with our Father and asked to find a dwelling place for our Father.OLCBDawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba.
47But it was Solomon who built a house for him.OLCBNaye Sulemaani ye yagizimba.
48Yet the Most High does not live in houses made by human hands, as the prophet says:OLCB“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,
49'Heaven is my throne, and the earth is my footstool. What kind of house will you build for me, says our Father, or what is the place of my rest?OLCB“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka. N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama n’agamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50Did not my hand make all these things?'OLCBOmukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’
51"You stubborn people, uncircumcised in heart and ears, always resist the Holy Spirit—like your fathers, so do you.OLCB“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.
52Which of the prophets did your fathers not persecute? They killed those who announced beforehand the Righteous One's coming—whom you have now betrayed and murdered.OLCBNnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta.
53You who received the law through angels and yet did not keep it."OLCBMmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
54Now when they heard these things they were enraged, and they ground their teeth at him.OLCBAwo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji.
55But Stephen, full of the Holy Spirit, looked into heaven, saw the glory of our Father, and Jesus standing at the right hand of our Father.OLCBNaye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.
56And he said, "Look, I see the heavens opened and the Son of Man standing at our Father's right hand."OLCBN’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
57But they cried out with a loud voice, covered their ears, and rushed at him.OLCBNe baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako.
58They threw him out of the city and stoned him. The witnesses laid their coats at the feet of a young man named Saul.OLCBNe bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.
59And as they were stoning him, Stephen called out, "Lord Jesus, receive my spirit."OLCBAwo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.”
60Kneeling, he cried out loudly, "Lord, do not hold this sin against them." Then he fell asleep.OLCBN’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.