Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In those days, as the disciples multiplied, the Greek-speaking Jews grumbled against the Hebrews because their widows were overlooked in the daily distribution of food. Awo mu biseera ebyo abakkiriza bwe baagenda beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya nti bannamwandu baabwe basosolwa, ne bataweebwa kyenkanyi.
2 So the Twelve called all the disciples together and said, "It's not right for us to neglect our Father's word to serve tables. Awo ekkumi n’ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abayigirizwa, ne babagamba nti, “Kirungi ebiseera byaffe tubimalire ku kubuulira Njiri, so si mu kugabanya mmere.
3 So, brothers, pick seven men among you, well-respected, full of the Holy Spirit and wisdom, whom we'll appoint to this task. Noolwekyo, abooluganda, mwerondemu abasajja musanvu, abasiimibwa abantu, ng’abantu b’amagezi, era abajjudde Mwoyo Mutukuvu, tubakwase omulimu ogwo.
4 But we will devote ourselves to prayer and to the ministry of the word." Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, n’okubuulira n’okuyigiriza.”
5 The whole assembly approved, and chose Stephen—full of faith and the Holy Spirit—along with Philip, Prochorus, Nicanor, Timon, Parmenas, and Nicolaus, a convert from Antioch. Ebigambo ebyo byonna abaakuŋŋaana ne babisiima. Ne balonda Suteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo eyava mu Antiyokiya,
6 They presented these men to the apostles, who prayed and laid their hands on them. ne babanjula eri abatume. Abatume ne babasabira, ne babasaako emikono.
7 The word of our Father spread, and disciples in Jerusalem multiplied greatly; a great number of priests became obedient to the faith. Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna n’omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera obunene mu Yerusaalemi; era ne bakabona, ekibiina kinene, ne beewaayo okukkiriza.
8 Now Stephen, full of grace and power, was performing great wonders and signs among the people. Suteefano, ng’ajjudde ekisa kya Katonda n’amaanyi, n’akolanga ebyamagero bingi n’obubonero mu bantu.
9 Some from the so-called Synagogue of the Freedmen—Cyrenians, Alexandrians, and men from Cilicia and Asia—rose up to argue with Stephen. Naye abamu ku b’omu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, n’Abakuleene n’Abalegezanderiya, n’Abakirukiya n’Abasiya, ne bawakana ne Suteefano.
10 Yet they could not stand up against the wisdom and the Spirit with which he was speaking. Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi n’Omwoyo bye yayogeza.
11 Then they secretly instructed men to say, "We heard him speak blasphemous words against Moses and God." Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti twamuwulira ng’ayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.
12 They stirred up the people, elders, and scribes; came upon him, seized him, and brought him before the council. Abantu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka ne banyiiga nnyo. Ne bakwata Suteefano ne bamuleeta mu Lukiiko Olukulu.
13 They brought in false witnesses, saying, "This man never stops speaking against this holy place and the law. Abajulizi ab’obulimba ne boogera nti, “Omuntu ono buli kiseera avvoola ekifo kino ekitukuvu n’amateeka.
14 For we heard him say this Jesus of Nazareth will destroy this place and change the customs Moses handed down to us." Era twamuwulira ng’agamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino n’obulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”
15 Everyone sitting in the council stared at him and saw his face was like an angel's face. Ab’Olukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ng’amasamasa ng’aga malayika!
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]