Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now a man named Ananias, together with his wife Sapphira, sold a piece of property. Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye
2 He kept back part of the proceeds for himself, with his wife aware, and brought only a portion, laying it at the apostles' feet. ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume.
3 But Peter said, "Ananias, why has Satan filled your heart to lie to the Holy Spirit and keep back part of the land's price? Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro?
4 Wasn't it yours while unsold? After selling, wasn't the money yours to control? Why did you plan this in your heart? You didn't lie to people, but to our Father." Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
5 Hearing these words, Ananias fell down and died; great fear seized all who heard. Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi.
6 Then the young men rose, wrapped up his body, carried him out, and buried him. Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7 About three hours later his wife came in, not knowing what had happened. Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo.
8 Peter asked her, "Tell me, did you sell the land for this much?" She said, "Yes, for that much." Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.”
9 Then Peter said to her, "Why did you conspire to test the Spirit of our Father? Look, the feet of those who buried your husband are at the door, and they'll carry you out too." Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
10 At once she fell at his feet and died. The young men came in, found her dead, carried her out, and buried her beside her husband. Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
11 And great fear came upon the whole church and upon all who heard of these things. Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.
12 Many signs and wonders happened among the people through the apostles' hands. They all gathered together in Solomon's Portico. Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu.
13 None of the rest dared to join them, but the people held them in high honor. So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo.
14 Even more believers were added to the Lord—crowds of men and women, Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe.
15 so they even carried the sick into the streets and put them on cots and mats, hoping that at least Peter's shadow might fall on some of them as he passed. Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze.
16 Crowds also came from towns around Jerusalem, bringing the sick and those tormented by unclean spirits, and all were healed. Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
17 The high priest rose up, and all with him, the Sadducee party, and they were filled with jealousy. Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya.
18 They arrested the apostles and put them in the public prison. Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna.
19 But at night an angel of our Father opened the prison doors, led them out, and said, Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya,
20 "Go, stand in the temple and speak to the people all the words of this Life." n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.”
21 Hearing this, they went into the temple at dawn and began teaching. When the high priest and those with him arrived, they convened the council—the full assembly of elders of Israel—and sent to the jail to have them brought. Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese.
22 But the guards found no one there when they arrived; they returned and reported, Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu
23 "We found the prison locked tight, guards standing at the doors, but opening them, found no one inside." nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.”
24 Hearing this, the temple guard captain and chief priests were baffled, wondering where it would lead. Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.
25 Someone came and reported, "Look, the men you jailed are standing in the temple teaching the people!" Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.”
26 Then the captain and officers went and brought them, without force, fearing the people would stone them. Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja.
27 When they had brought them, they set them before the council. And the high priest questioned them, Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza
28 saying, "We strictly ordered you not to teach in this name, yet you've filled Jerusalem with your teaching and intend to bring this man's blood on us." ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
29 But Peter and the apostles answered, "We must obey our Father rather than men. Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.
30 The God of our fathers raised Jesus, whom you killed by hanging him on a tree. Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti.
31 Our Father exalted him to his own right hand as Ruler and Savior, to give Israel repentance and forgiveness of sins. Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi.
32 We are witnesses of these things, and so is the Holy Spirit, whom our Father gave to those who obey him." Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
33 When they heard this, they were enraged and wanted to kill them. Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta.
34 But a Pharisee named Gamaliel, a law teacher honored by all the people, stood up in the council and ordered the men taken outside briefly. Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru.
35 He told them, "Israelites, think carefully about what you're about to do with these men. N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako.
36 Before this, Theudas appeared, claiming to be somebody; about 400 men followed him. He was killed, his followers all scattered, and it came to nothing. Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo.
37 After him, Judas the Galilean rose up during the census and drew people away after him. He too died, and all who followed him were scattered. Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako.
38 Now I tell you: stay away from these men and leave them alone. If this plan or work is from men, it will fail. Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma.
39 But if it's from our Father, you won't be able to overthrow them; you might even find yourselves fighting our Father." So they were persuaded by him. Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
40 Persuaded by him, they called in the apostles, beat them, ordered them not to speak in the name of Jesus, and released them. Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.
41 So they left the council, rejoicing they'd been counted worthy to be shamed for the name. Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya.
42 Every day, in the temple and house to house, they never stopped teaching and proclaiming the good news: the Christ is Jesus. Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]