Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 While Peter and John were speaking to the people, the priests, the temple captain, and the Sadducees came up to them, Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali,
2 greatly annoyed because they were teaching the people and proclaiming the resurrection from the dead in Jesus. nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu.
3 They arrested them and put them in custody until the next day, since it was already evening. Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera.
4 But many who heard the message believed, and the men's number reached about 5,000. Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
5 The next day their rulers, elders, and teachers of the law gathered together in Jerusalem, Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi.
6 with Annas the high priest, Caiaphas, John, Alexander, and all who were of the high-priestly family. Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu.
7 They stood them in the middle and asked, "By what power or by what name did you do this?" Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
8 Then Peter, filled with the Holy Spirit, said to them, "Rulers of the people and elders, Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu,
9 if we're questioned today about a good deed to a sick man, how he was healed. obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa,
10 Know this, all of you and all Israel's people: by the name of Jesus Christ of Nazareth, whom you crucified, whom our Father raised from the dead—by him this man stands before you well. mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
11 This Jesus is "the stone you builders rejected, which has become the cornerstone." “ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
12 Salvation is in no one else; no other name under heaven is given among people by which we must be saved." Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
13 Seeing Peter and John's boldness, and realizing they were uneducated, ordinary men, they were amazed and recognized they had been with Jesus. Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu.
14 Seeing the healed man standing with them, they had nothing to say against it. Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula.
15 So they ordered them to leave the council, and then they conferred among themselves, Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo.
16 saying, "What should we do with these men? A notable sign has happened through them, plain to all who live in Jerusalem, and we cannot deny it. Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde.
17 But to stop this from spreading further among the people, let's warn them to speak to no one in this name again." Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
18 They called them and ordered them not to speak or teach at all in Jesus' name. Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu.
19 Peter and John answered them, "You judge whether it's right before our Father to listen to you rather than to him. Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda.
20 For we cannot help speaking about what we have seen and heard." Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
21 After more threats, they released them, finding no way to punish them because of the people, since all were glorifying our Father for what happened. Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo.
22 For the man who had received this sign of healing was over forty years old. Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
23 Once released, they went to their own people and reported all the chief priests and elders had said to them. Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba.
24 Hearing this, they raised their voices together to our Father and said, "Sovereign Father, you made heaven, earth, sea, and everything in them. Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu,
25 You spoke by the Holy Spirit through the mouth of our father David, your servant: "Why did the nations rage and the peoples plot in vain?" ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti: “ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde, n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
26 The kings of the earth took their stand, and the rulers gathered together against our Father and against his Anointed." Bakabaka b’ensi n’abakulembeze, beegatta okulwanyisa Mukama n’okulwanyisa Kristo we.’
27 For truly, in this city, Herod and Pontius Pilate gathered with the Gentiles and peoples of Israel against your holy servant Jesus, whom you anointed, Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta,
28 to do whatever your hand and your plan had decided beforehand should happen. ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo.
29 Now, Father, see their threats, and let your servants speak your word with all boldness, Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo,
30 as you reach out your hand to heal, and signs and wonders occur through the name of your holy servant Jesus. golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
31 After they prayed, the place they were gathered in shook; all were filled with the Holy Spirit and spoke the word of our Father boldly. Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
32 All the believers were one in heart and soul; no one called any possession their own, but held everything in common. Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu.
33 With great power the apostles testified to the Lord Jesus's resurrection, and great grace rested on them all. Awo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi.
34 No one among them was needy: all who owned land or houses sold them and brought the price of what was sold, Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze
35 and laid it at the apostles' feet, and it was distributed to each according to their need. ne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.
36 Joseph, a Levite from Cyprus, whom the apostles called Barnabas (which means Son of Encouragement), Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti atereeza emitima gy’abantu) eyazaalibwa e Kupulo,
37 sold a field he owned, brought the money, and laid it at the apostles' feet. n’atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n’azireeta ku bigere by’abatume.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]