Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Peter and John were going up to the temple at around three in the afternoon, the hour of prayer. Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda,
2 A man lame from birth was carried and placed daily at the temple gate called Beautiful, to beg from those entering the temple. ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza.
3 Seeing Peter and John about to go into the temple, he asked them for money. Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi.
4 And Peter, gazing at him with John, said, "Look at us." Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!”
5 And he fixed his attention on them, expecting to receive something from them. N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.
6 Peter said, "I own no silver or gold, but I give you what I have: in the name of Jesus Christ of Nazareth, rise and walk." Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!”
7 Taking his right hand, he raised him up; instantly his feet and ankles grew strong. Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi,
8 Jumping up, he stood, began walking, and entered the temple with them, walking, jumping, and praising our Father. n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda.
9 And all the people saw him walking and praising our Father. Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda,
10 They recognized him as the beggar who sat at the temple's Beautiful Gate, and were filled with wonder and amazement at what had happened to him. ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.
11 As he held on to Peter and John, all the people ran to them at the portico called Solomon's, utterly astonished. Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde.
12 Seeing this, Peter said to the people, "Israelites, why does this amaze you? Why stare at us, as if by our own power or godliness we made him walk? Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono?
13 The God of Abraham, Isaac, and Jacob, the God of our fathers, glorified his servant Jesus, whom you handed over and denied before Pilate, when Pilate decided to release him. Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula,
14 But you denied the Holy and Righteous One, asking that a murderer be given to you. naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu.
15 You killed the Author of life; our Father raised him from the dead. To this we are witnesses. Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa.
16 His name, through faith in his name, has made this man strong—the very man you see and know. And faith in Jesus has given him this complete health right before your eyes. Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
17 "And now, brothers, I know that you acted in ignorance, as did also your rulers. “Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo.
18 But our Father fulfilled what he predicted through all the prophets: his Christ would suffer. Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo.
19 Repent, then, and turn back, so your sins are wiped out, Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,
20 that times of refreshing may come from our Father's presence, and that he may send the Christ appointed for you, Jesus, mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda,
21 whom heaven must receive until all things are restored, about which our Father spoke through his holy prophets long ago. eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu.
22 Moses said, 'Your Father will raise up a prophet like me for you, from your brothers. Listen to him in everything he tells you.' Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba.
23 Anyone who does not listen to that prophet will be utterly destroyed from among the people.' Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’
24 All the prophets who spoke, from Samuel onward, also announced these days. “Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno.
25 You are the sons of the prophets and of the covenant our Father made with your fathers, telling Abraham, 'By your offspring all the families of the earth will be blessed.' Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’
26 Our Father raised up his servant and sent him to you first, to bless you by turning each of you from your evil." Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]