Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When the day of Pentecost arrived, they were all together in one place. Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu.
2 Suddenly a sound like a violent, rushing wind came from heaven and filled the entire house where they sat. Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde.
3 What looked like divided tongues of fire appeared and rested on each one of them. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro.
4 All were filled with the Holy Spirit and began speaking in other tongues, as the Spirit gave them words to say. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
5 At that time devout Jews from every nation under heaven were living in Jerusalem. Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu.
6 When this sound rang out, a crowd gathered, confused, since each one heard them speak in his own language. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe.
7 They were amazed and astonished, saying, "Are not all these who are speaking Galileans? Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya?
8 How is it, then, that each of us hears them in our own native language? Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa?
9 Parthians, Medes, and Elamites; those who live in Mesopotamia, Judea and Cappadocia, Pontus and Asia, Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya,
10 Phrygia, Pamphylia, Egypt, the parts of Libya near Cyrene; visitors from Rome, Jews and converts to Judaism; ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi,
11 Cretans and Arabs—we hear them telling in our own tongues the mighty works of our Father!" Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.”
12 They were all amazed and perplexed, saying to one another, "What does this mean?" Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”
13 But others mocked and said, "They are full of sweet wine." Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”
14 But Peter stood with the eleven, raised his voice, and declared to them: "Men of Judea, everyone living in Jerusalem—know this and listen carefully to my words. Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize.
15 These people are not drunk, as you suppose, for it is only nine o'clock in the morning. Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya!
16 No, this is what was spoken through the prophet Joel: Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,
17 'And in the last days, says our Father, I will pour out my Spirit on all people; your sons and your daughters will prophesy, your young men will see visions, and your old men will dream dreams. “ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, bw’ayogera Katonda, ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi; n’abavubuka bammwe balyolesebwa, n’abakadde baliroota ebirooto.
18 Even on my male servants and my female servants in those days I will pour out my Spirit, and they will prophesy. Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange, ku baweereza bange abasajja n’abakazi; baliwa obunnabbi.
19 I will show wonders in the heavens above and signs on the earth below—blood and fire and billows of smoke. Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu, n’obubonero ku nsi wansi, omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 The sun will be turned to darkness and the moon to blood, before the great and glorious day of the Lord comes. Enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 And everyone who calls on the name of the Lord will be saved.'" Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama, alirokolebwa.’
22 "Men of Israel, hear these words: Jesus of Nazareth—a man our Father attested to you through miracles, wonders, and signs our Father did through him among you, as you yourselves know. “Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi.
23 This man, handed over by our Father's set plan and foreknowledge, you crucified and killed by the hands of lawless men. Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba.
24 But our Father raised him, freeing him from death's agony, since death could not hold him. Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza.
25 For David says of him: 'I saw our Father always before me, for he's at my right hand, so I won't be shaken.' Kubanga Dawudi amwogerako nti, “ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo, kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana.
26 Therefore my heart was glad and my tongue rejoiced; moreover, my body also will rest in hope. Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza. Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 For you will not abandon my soul to the grave, nor let your Holy One see decay. Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 You have shown me the paths of life; you will fill me with gladness in your presence." Wandaga amakubo g’obulamu, era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’
29 "Brothers, I can tell you plainly: our ancestor David died, was buried, and his tomb remains with us to this day. “Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano.
30 Since he was a prophet, he knew our Father had sworn an oath to seat one of his descendants on his throne, Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe,
31 he foresaw and spoke of the Christ's resurrection, that he was not abandoned to the grave, nor his body saw decay. bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda.
32 This Jesus our Father raised up, and we are all witnesses of it. Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa.
33 So, lifted up to our Father's right hand, having received the promised Holy Spirit from the Father, he poured out what you now see and hear. Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko.
34 For David never went up into heaven, but he himself says: "Our Father said to my Lord, 'Sit at my right hand, Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 until I make your enemies a footstool for your feet.'" okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’
36 "So let the whole house of Israel know for certain: our Father made this Jesus, whom you crucified, both Lord and Christ." “Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
37 Cut to the heart at this, they asked Peter and the other apostles, "Brothers, what should we do?" Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
38 Peter said to them, "Repent, and each of you be baptized in the name of Jesus Christ for the forgiveness of your sins, and you will receive the gift of the Holy Spirit. Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
39 For the promise is for you, your children, and all far off—as many as the Sovereign our Father will call to himself." Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
40 And with many other words he warned and urged them, saying, "Save yourselves from this corrupt generation." Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama.
41 So those who welcomed his message were baptized, and about 3,000 people were added that day. Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.
42 They devoted themselves to the apostles' teaching and deep communion, to the breaking of bread and the prayers. Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.
43 Awe came over everyone, and many wonders and signs were done through the apostles. Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume.
44 All who believed were together and had all things in common. Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna.
45 They sold their property and possessions and distributed the proceeds to all, as anyone needed. Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.
46 Every day, devoting themselves together in the temple, breaking bread house to house, they shared food with joyful, sincere hearts, Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa,
47 praising our Father, with favor among all the people. The Lord added to their number daily those being saved. nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]