Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In my first book, Theophilus, I wrote about everything Jesus began to do and teach, Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza,
2 until the day he was taken up, having given commands through the Holy Spirit to the apostles he had chosen. okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
3 After his suffering, he showed himself alive to them through many proofs, appearing to them forty days, speaking of our Father's kingdom. Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda.
4 While staying with them, he ordered them not to leave Jerusalem but to wait for my Father's promise—"which," he said, "you heard from me; Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti,
5 for John baptized with water, but within a few days you will be baptized with the Holy Spirit." ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”
6 So, gathered together, they asked, "Lord, will you restore the kingdom to Israel now?" Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”
7 He said to them, "You're not to know times or seasons that my Father has set by his own authority. Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe.
8 But when the Holy Spirit falls on you, you'll gain power to be my witnesses—in Jerusalem, all Judea, Samaria, and earth's farthest reaches." Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”
9 After he said these things, as they watched, he was lifted up, and a cloud took him from their sight. Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
10 As they stared into heaven while he went, suddenly two men in white clothes stood beside them. Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika,
11 They said, "Galileans, why stare at the sky? This Jesus, taken from you into heaven, will return exactly as you saw him go." ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”
12 Then they returned to Jerusalem from the Mount called Olivet, near Jerusalem, about a half-mile away. Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti.
13 Entering, they went up to the upstairs room where they stayed: Peter, John, James, Andrew, Philip, Thomas, Bartholomew, Matthew, James son of Alphaeus, Simon the Zealot, and Judas son of James. Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano: Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya, ne Firipo ne Tomasi, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.
14 All these persisted together in prayer, with the women, Mary the mother of Jesus, and his brothers. Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
15 In those days Peter stood up among the brothers (about 120 in all) and said, Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti,
16 "Brothers, the Scripture the Holy Spirit spoke beforehand through the mouth of David about Judas—who became guide to those who arrested Jesus—had to be fulfilled. “Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi.
17 For he was numbered among us and was allotted his share in this ministry." Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”
18 (This man bought a field with the pay for his wrongdoing, then fell headfirst, burst open in the middle, and all his insides spilled out. Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika.
19 This became known to everyone living in Jerusalem, so the field was named in their language Akeldama, that is, Field of Blood.). Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
20 "For it's written in the Book of Psalms: 'Let his camp become empty, with no one living there,' and 'Let another take his position.' “Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti, “ ‘Ekibanja kye kizike, so kireme okubeerangamu omuntu.’ ‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’
21 So one of the men who accompanied us all along, while the Lord Jesus went in and out among us, Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu,
22 from John's baptism until the day he was taken up from us—one of these must become with us a witness to his resurrection." okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”
23 And they put forward two—Joseph called Barsabbas, who was also called Justus, and Matthias. Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya.
24 They prayed and said, "You, Lord Jesus, who know all hearts, show which one of these two you chose, Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri,
25 to take the place in this ministry and apostleship that Judas left to go to his own place. okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.”
26 They cast lots for them; the lot fell to Matthias, and he was counted with the eleven apostles." Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]