Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Afterward Jesus showed himself again to the disciples by the Sea of Tiberias—this is how he showed himself. Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya. Yabalabikira bw’ati:
2 Simon Peter, Thomas called Twin, Nathanael from Cana in Galilee, Zebedee's sons, and two other disciples were together. Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu.
3 Simon Peter told them, "I'm going fishing." "We'll go with you," they said. So they went out and got into the boat, but caught nothing that night. Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
4 At daybreak Jesus stood on the shore, yet the disciples didn't know it was Jesus. Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.
5 Jesus said to them, "Children, do you have any fish?" They answered him, "No." Yesu n’ababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
6 He told them, "Cast the net on the boat's right side, and you'll find fish." So they cast it, and were no longer able to haul it in for the sheer number of fish. Yesu n’abagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!
7 The disciple Jesus loved told Peter, "It's the Lord!" Hearing it was the Lord, Simon Peter wrapped his coat around him—he'd taken it off to work—and threw himself into the sea. Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi.
8 The other disciples came in the boat, dragging the net full of fish, since they were only about one hundred yards from shore. Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda.
9 When they went ashore, they saw a charcoal fire with fish on it, and bread. Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.
10 Jesus said to them, "Bring some of the fish you have just caught." Yesu n’abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.”
11 So Simon Peter climbed aboard and dragged the net ashore, full of 153 large fish; despite so many, it didn't tear. Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.
12 Jesus said to them, "Come, eat breakfast." None of the disciples dared ask him, "Who are you?"—they knew it was the Lord. Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” Naye ku bayigirizwa tewaali n’omu yategana ku mubuuza nti, “Ggwe ani?” Kubanga bonna baamanya nti ye Mukama waffe.
13 Jesus came, took the bread, and gave it to them, and the fish as well. Yesu n’atoola omugaati n’abagabira era n’ebyennyanja n’akola bw’atyo.
14 This was now the third time Jesus revealed himself to the disciples after being raised from the dead. Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng’amaze okuzuukira.
15 After they ate breakfast, Jesus asked Simon Peter, "Simon, son of John, do you love me with all your heart, more than these?" He answered, "Yes, Lord, you know I love you as a friend." Jesus told him, "Feed my lambs." Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?” Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.” Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”
16 A second time Jesus asked, "Simon son of John, do you love me with all your heart?" He replied, "Yes, Lord, you know I love you as a friend." Jesus said, "Take care of my sheep." Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?” Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”
17 A third time Jesus said to him, "Simon son of John, do you love me as a friend?" Peter was hurt that Jesus asked him a third time, "Do you love me as a friend?" and said, "Lord, you know everything; you know that I love you as a friend." Jesus said to him, "Feed my sheep." Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange.
18 "Truly, truly, I tell you: when you were young, you dressed yourself and went where you wanted; but when you're old, you'll stretch out your hands, and another will dress you and take you where you don't want to go." Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.”
19 Jesus said this to show by what kind of death Peter would glorify our Father. Then he told him, "Follow me." Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
20 Peter turned and saw the disciple Jesus loved following—the one who leaned back against Jesus at supper and asked, "Lord, who is going to betray you?" Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?”
21 When Peter saw him, he said to Jesus, "Lord, what about this man?" Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
22 Jesus told him, "If I want him to remain until I come, what's that to you? You follow me." Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.”
23 So this word spread among the brothers and sisters that this disciple would not die. Yet Jesus did not tell him he would not die, but, "If I want him to remain until I come, what is that to you?" Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”
24 This is the disciple testifying to these things and who wrote them; we know his testimony is true. Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga by’ategeeza bya mazima.
25 Jesus did many other things too. If each were written down, I don't think the world itself could hold the books written. Waliwo n’ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]