Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 There was a man in Caesarea named Cornelius, a centurion of what was called the Italian Cohort. Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole ky’abaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano.
2 He was devout, feared our Father with his whole household, gave many gifts to the people, and prayed to our Father constantly. Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo.
3 About three in the afternoon he saw clearly in a vision an angel of our Father come to him and say, "Cornelius." Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”
4 Staring at him, terrified, he said, "What is it, sir?" The angel replied, "Your prayers and gifts to the poor have risen as a memorial before our Father." Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?” Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira.
5 Now send men to Joppa and bring a man named Simon, who is called Peter. Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire.
6 He is lodging with a tanner named Simon, whose house is by the sea. Abeera wa Simooni omuwazi w’amaliba, era enju ye eri ku lubalama lw’ennyanja.”
7 When the angel who spoke to him left, Cornelius called two of his household servants and a devout soldier from among his regular attendants, Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza,
8 and after explaining everything to them, he sent them to Joppa. n’abannyonnyola byonna ebibaddewo, n’abatuma e Yopa.
9 The next day, as they journeyed and neared the city, Peter went up on the roof to pray, about noon. Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba.
10 He grew hungry and wanted to eat, but while they prepared food, a trance came over him, Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa.
11 and saw heaven opened, and something like a large sheet coming down, lowered by its four corners to the earth. N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka.
12 It held all kinds of four-footed animals and reptiles of the earth and birds of the air. Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga.
13 And a voice came to him: "Rise, Peter; kill and eat." Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”
14 But Peter said, "Absolutely not, Lord; for I have never eaten anything common or unclean." Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
15 The voice came to him again, a second time: "What I have made clean, don't call common." Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”
16 This happened three times, and at once the sheet was taken up to heaven. Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.
17 While Peter was puzzled over what the vision meant, suddenly the men sent by Cornelius, having asked the way to Simon's house, stood at the gate, Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi
18 and called out to ask whether Simon who was called Peter was lodging there. nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.
19 As Peter thought about the vision, the Holy Spirit said to him, "Three men are looking for you. Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya.
20 Get up, go downstairs, and go with them without hesitation, for I have sent them." Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”
21 Peter went down to the men and said, "I'm the one you're looking for. Why have you come?" Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”
22 They said, "Cornelius, a centurion, upright, fears our Father, and respected by the whole Jewish nation, was told by a holy angel to summon you to his house and hear what you have to say." Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.”
23 So he invited them in and hosted them. Next day he set out with them, joined by some brothers from Joppa. Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.
24 The next day he entered Caesarea. Cornelius, expecting them, had gathered his relatives and close friends. Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero.
25 When Peter entered, Cornelius met him and fell down at his feet and worshiped him. Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza.
26 But Peter lifted him up, saying, "Stand up! I'm a man too." Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
27 While talking with Cornelius, Peter went in and found many people gathered. N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde.
28 He said to them, "You yourselves know it's unlawful for a Jew to associate with or visit someone of another nation. But our Father showed me I should call no one common or unclean. Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu.
29 So, sent for, I came without objection. Now, why did you send for me?" Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
30 Cornelius said, "Four days ago at this hour, three in the afternoon, I was praying in my house, and suddenly a man in bright clothing stood before me, Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana.
31 and said, 'Cornelius, your prayer was heard and your gifts to the poor remembered before our Father. N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu.
32 So send to Joppa and call for Simon, known as Peter. He's staying in Simon the tanner's house, by the sea.' Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’
33 So I sent for you at once, and you did well to come. Now we're all here before God, to hear all the Lord has commanded you." Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
34 Peter spoke up: "I truly see our Father shows no favoritism, Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu,
35 but in every nation anyone who fears him and does what is right is acceptable to him. wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima.
36 He sent his word to the Israelites, announcing good news of peace through Jesus Christ—he is Lord of all. Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna.
37 You yourselves know what happened throughout all Judea, beginning from Galilee after the baptism that John proclaimed: Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira.
38 how our Father anointed Jesus of Nazareth with the Holy Spirit and power, how he went about doing good and healing all oppressed by the devil, for our Father was with him. Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 We are witnesses of all he did in the Jews' land and Jerusalem—they killed him, hanging him on a tree, “Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba.
40 but our Father raised him on the third day and made him appear, Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu.
41 not to all the people but to us, witnesses whom our Father chose beforehand, who ate and drank with him after he rose from the dead. Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu.
42 He commanded us to preach to the people and testify: our Father appointed him judge of the living and the dead. N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu.
43 To him all the prophets testify that everyone believing in him receives forgiveness of sins through his name." Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
44 While Peter was still saying these things, the Holy Spirit fell on all who heard the word. Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo!
45 The circumcised believers who came with Peter were amazed that the gift of the Holy Spirit was poured out on Gentiles too. Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga.
46 For they heard them speaking in tongues and praising our Father. Then Peter declared, Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda. Awo Peetero n’agamba nti,
47 "Can anyone refuse water to baptize these people, who received the Holy Spirit as we did?" “Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?”
48 He ordered them baptized in Jesus Christ's name. Then they asked him to stay several days. Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]