Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The apostles and brothers in Judea heard that Gentiles too had received our Father's word. Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda.
2 So when Peter went up to Jerusalem, those of the circumcision party criticized him, Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya,
3 saying, "You visited uncircumcised men and ate with them." nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”
4 But Peter explained it to them step by step: Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba
5 Praying in the city of Joppa, I fell into a trance and saw a vision: a huge sheet-like object, lowered from heaven by its four corners, reaching me. nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu.
6 Looking closely at it, I saw four-legged animals, wild beasts, reptiles, and birds. Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga.
7 And I heard a voice saying to me, 'Get up, Peter; kill and eat.' Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’
8 But I said, 'By no means, Lord; for nothing impure or unclean has ever entered my mouth.' “Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
9 But the voice answered a second time from heaven, 'What our Father has made clean, do not call impure.' “Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’
10 This happened three times, and all of it was drawn up again into heaven. Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.
11 Right then three men, sent to me from Caesarea, arrived at the house where we stayed. “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula!
12 The Spirit told me to go with them, making no distinction. These six brothers also went with me, and we entered the man's house. Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo.
13 He told us how he saw the angel standing in his house and saying, 'Send to Joppa and bring Simon called Peter; N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero,
14 he will bring you a message by which you will be saved, you and all your household.' ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’
15 When I began speaking, the Holy Spirit fell on them just as on us at first. “Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala!
16 Then I remembered what our Lord Jesus said: 'John baptized with water, but you will be baptized with the Holy Spirit.' Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’
17 If our Father gave them the same gift he gave us who believed in the Lord Jesus Christ, who was I to stand in our Father's way? Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
18 Hearing this, they quieted down and praised our Father, saying, "So our Father has granted repentance that leads to life even to the Gentiles." Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”
19 Those scattered by the persecution over Stephen traveled as far as Phoenicia, Cyprus, and Antioch, speaking the message to no one but Jews. Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka.
20 But some of them—men from Cyprus and Cyrene—reached Antioch and spoke to Hellenists too, telling the good news about the Lord Jesus. Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu.
21 The hand of our Lord Jesus was with them, and many believed and turned to the Lord. Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.
22 The church in Jerusalem heard about this and sent Barnabas to Antioch. Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza.
23 Arriving, he saw our Father's grace and rejoiced, urging all to remain devoted to the Lord with firm hearts. Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna.
24 For he was a good man, full of the Holy Spirit and faith, and a large crowd was added to the Lord. Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.
25 So Barnabas went to Tarsus to look for Saul, Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo,
26 finding him, he brought him to Antioch. For a full year they met with the church and taught a large crowd, and in Antioch the disciples were first called Christians. bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
27 In these days prophets came down from Jerusalem to Antioch. Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi.
28 One of them, named Agabus, stood up and predicted through the Spirit that a great famine would come over the whole world—it happened in Claudius's days. Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo.
29 The disciples decided, each according to ability, to send relief to the brothers living in Judea. Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola,
30 And they did so, sending it to the elders through Barnabas and Saul. ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]