Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 All the tribes of Israel came to David at Hebron and said, "We are your own flesh and blood. Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo.
2 Before, when Saul was our king, you led Israel out and brought them home. And our Father told you, 'You will shepherd my people Israel and be ruler over Israel.'" Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
3 All Israel's elders came to the king at Hebron, where King David made a covenant with them before our Father, and they anointed David king over Israel. Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri.
4 David was thirty years old when he became king, and he reigned forty years. Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana.
5 In Hebron he reigned over Judah seven years and six months, and in Jerusalem thirty-three years over all Israel and Judah. Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
6 Then the king and his men marched on Jerusalem against the Jebusites living there. They taunted David, "You'll never get in here; even the blind and lame can turn you back"—thinking, "David can't get in here." Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira.
7 Nevertheless David captured the stronghold of Zion, that is, the city of David. Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
8 That day David said, "Whoever strikes down a Jebusite must reach the water shaft to strike the lame and blind, hated by David's soul." So they say, "The blind and lame won't enter the house." Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.”
9 David settled in the stronghold and named it the City of David. He built up the area all around, from the Millo inward. Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe.
10 And David grew greater and greater, for our Father, the God of heaven's armies, was with him. Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.
11 Hiram king of Tyre sent David messengers, cedar logs, carpenters, and stonemasons, and they built David a house. Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
12 David knew our Father had established him as king over Israel and had exalted David's kingdom for the sake of our Father's people Israel. Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
13 After leaving Hebron, David took more concubines and wives from Jerusalem, and more sons and daughters were born to him. Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa.
14 These are the names of the children born to him in Jerusalem: Shammua, Shobab, Nathan, and Solomon, Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
15 Ibhar, Elishua, Nepheg, Japhia, ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya,
16 Elishama, Eliada, and Eliphelet. ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti.
17 When the Philistines heard David had been anointed king over Israel, they all marched up to look for him. But David heard of it and went down to the stronghold. Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye.
18 Now the Philistines had come and spread out across the Valley of Rephaim. Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu.
19 David asked our Father, "Should I attack the Philistines? Will you hand them over to me?" And our Father answered David, "Go ahead—I will surely hand the Philistines over to you." Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
20 So David went to Baal-perazim and defeated them there. He said, "Our Father has burst through my enemies before me like a bursting flood." So he named that place Baal-perazim. Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
21 The Philistines abandoned their idols there, and David and his men carried them off. Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.
22 Once more the Philistines came up and spread out across the Valley of Rephaim. Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu.
23 When David asked our Father, he answered, "Don't go straight up. Circle behind them and attack them opposite the balsam trees. Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda.
24 As soon as you hear marching in the tops of the balsam trees, move fast, for then your Father will have gone out ahead of you to strike down the Philistine camp." Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
25 So David did exactly as our Father had commanded, striking down the Philistines from Geba to Gezer. Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]