Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Saul's son Ish-bosheth heard Abner had died in Hebron, he lost his courage, and all Israel was shaken. Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng’afiiridde e Kebbulooni, n’aggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira.
2 Saul's son had two raiding-band leaders: Baanah and Rechab, sons of Rimmon the Beerothite, of Benjamin—for Beeroth too is counted part of Benjamin, Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, n’owokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ng’ava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini,
3 for the Beerothites had fled to Gittaim and have lived there as foreigners to this day. engeri abantu ab’e Beerosi bwe baddukira e Gittayimu, ne babeera eyo na guno gujwa.
4 Jonathan, Saul's son, had a boy lame in both feet. He was five when news of Saul and Jonathan came from Jezreel; his nurse grabbed him to flee, but as she rushed he fell and was crippled. His name was Mephibosheth. Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.
5 Rechab and Baanah, sons of Rimmon the Beerothite, came to Ish-bosheth's house in the heat of the day, while he took his noon rest. Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne balaga Isubosesi gye yabeeranga, ne batuuka mu ssaawa ez’etuntu, ne bamusanga ng’awummuddeko.
6 They went into the middle of the house as if to get wheat, stabbed him in the belly, and Rechab and his brother Baanah escaped. Ne bagenda mu kisenge eky’omunda ne baba ng’abajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.
7 They had entered the house while Ish-bosheth lay on his bed in his bedroom. They struck him down, killed him, cut off his head, and took it, traveling all night by way of the Arabah. Bwe bayingira mu nnyumba, baamusanga agalamidde ku kitanda mu kisenge kye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako n’omutwe. Ne batwala omutwe gwe, ne batambula ekiro kyonna mu kkubo erya Alaba.
8 They brought Ish-bosheth's head to David at Hebron and told the king, "Here is the head of Ish-bosheth son of Saul, your enemy who sought your life. Today our Father has avenged my lord the king on Saul and his offspring." Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo n’ezzadde lye.”
9 But David answered Rechab and his brother Baanah, sons of Rimmon the Beerothite: "As surely as our Father lives, who has redeemed my life from every distress, Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna,
10 when a man told me, 'Look, Saul is dead,' thinking he brought good news, I seized and killed him at Ziklag. That was the reward I gave him for his news! omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta.
11 How much more when wicked men kill a righteous man in his own house, on his own bed—should I not now demand his blood from you and remove you from the earth? Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”
12 David ordered his young men, and they killed them, cut off their hands and feet, and hung the bodies by the pool in Hebron. But Ish-bosheth's head they buried in Abner's tomb at Hebron." Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]