Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Once again David gathered all the chosen men of Israel, 30,000. Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri.
2 David set out with all his people from Baale-judah to bring up from there the ark of our Father, called by the Name, the name of the Father of heaven's armies seated on the cherubim. N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi.
3 They put the ark of our Father on a new cart and brought it from Abinadab's house on the hill; Uzzah and Ahio, sons of Abinadab, drove the new cart, Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera
4 with the ark of our Father, and Ahio walked ahead of the ark. ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu.
5 David and all the house of Israel celebrated before our Father with all their might—songs, lyres, harps, tambourines, castanets, and cymbals. Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.
6 When they arrived at Nacon's threshing floor, Uzzah reached out and grabbed our Father's ark, for the oxen had stumbled. Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda.
7 The anger of our Father burned against Uzzah; he struck him there for his irreverence, and he died there beside the ark of our Father. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda.
8 David was angry that our Father broke out against Uzzah; the place is still called Perez-uzzah today. Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.
9 David feared our Father that day and said, "How can the ark of our Father come to me?" Olunaku olwo Dawudi n’atya Mukama, n’ayogera nti, “Essanduuko ya Mukama eyinza etya okuleetebwa gye ndi?”
10 David refused to bring the ark of our Father into the City of David, taking it instead to Obed-edom the Gittite's house. Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11 The ark of our Father stayed three months in Obed-edom the Gittite's house, and our Father blessed Obed-edom and his whole household. Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.
12 King David was told, "Our Father has blessed Obed-edom's household and all he owns because of the ark." So David went and brought the ark of our Father up from Obed-edom's house to the city of David, rejoicing. Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza.
13 When those carrying our Father's ark had gone six steps, David sacrificed an ox and a fattened calf. Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka.
14 Then David danced before our Father with all his might, wearing a linen ephod. Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna.
15 David and all the house of Israel brought up the ark of our Father with shouts and ram's-horn blasts. Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.
16 As the ark of our Father entered the city of David, Michal, Saul's daughter, looked down from the window and saw King David leaping and dancing before our Father—and despised him in her heart. Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma.
17 They brought in the ark of our Father, set it in its place inside the tent David had pitched for it, and David offered burnt and peace offerings before our Father. Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama.
18 Once David finished offering burnt offerings and peace offerings, he blessed the people in the name of the Father of heaven's armies. Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye,
19 He gave all the people—Israel's whole crowd, man and woman alike—to each one a loaf of bread, a date cake, and a raisin cake. Then everyone went, each to his own home. buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.
20 When David returned to bless his own household, Michal the daughter of Saul came out to meet him and said, "How the king of Israel has honored himself today, uncovering himself before the eyes of the household servant girls, as any vulgar man would shamelessly uncover himself!" Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?”
21 David told Michal, "It was before our Father, who chose me over your father and all his house to make me ruler over our Father's people, over Israel. So I will celebrate before him. Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama.
22 I will humble myself even more than this, low in my own eyes; but with the maidservants you spoke of, with them I will be honored." Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”
23 And Michal the daughter of Saul had no child until the day she died. Awo muwala wa Sawulo Mikali, n’abeera mugumba okutuusa olunaku lwe yafa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]