Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When the king had settled in his house, and our Father had given him rest from all his surrounding enemies, Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola.
2 the king told Nathan the prophet, "Look now, I live in a house of cedar, but our Father's ark stays in a tent." N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.”
3 Nathan told the king, "Go, do all that's in your heart, for our Father is with you." Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”
4 But that same night the word of our Father came to Nathan: Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,
5 "Go tell my servant David: This is what your Father says: 'Are you the one to build me a house to live in? “Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu?
6 I have not lived in a house since I brought Israel up from Egypt until now, but have moved from place to place with a tent for my dwelling.' Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema.
7 Wherever I moved with all Israel, did I ever say a word to any leader I commanded to shepherd my people, 'Why haven't you built me a house of cedar?' Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’
8 Now tell my servant David: This is what the Father of heaven's armies says: 'I took you from the pasture, from following the flock, to rule my people Israel. “Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.
9 I was with you wherever you went, and cut off all your enemies before you. I will make your name great, like the greatest on earth. Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi.
10 I will provide a place for my people Israel and plant them there to live undisturbed in their own place. Violent men will no longer oppress them as before, Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye,
11 from when I appointed judges over my people Israel. I will give you rest from all your enemies. Your Father also declares to you that he himself will make you a house. okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya. “ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.
12 When your days end and you rest with your ancestors, I will raise up your offspring after you, who comes from your own body, and I will establish his kingdom. Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe.
13 He will build a house for my name, and I will establish his kingdom's throne forever. Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna.
14 I will be his Father, and he will be my son. When he sins, I will discipline him with a human rod, with blows human hands deal, Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu.
15 but my covenant love will not leave him, as I removed it from Saul, whom I removed from before you. Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go.
16 Your house and your kingdom will endure forever before me; your throne will be established forever.'" Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”
17 Nathan reported to David all these words and this entire vision. Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.
18 Then King David went in and sat before our Father, and said: "Who am I, Sovereign Father, and what is my house, that you brought me this far? Awo kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Mukama, n’ayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, n’ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
19 As if this were a small thing in your eyes, Sovereign Father, you have also spoken of your servant's house far into the future. Is this your way with all humanity, Sovereign Father? Gy’obeera ekyo tekimala, Ayi Mukama Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso ku nnyumba ey’omuddu wo. Bw’otyo bw’okolagana n’omuntu, Ayi Mukama Katonda?
20 What more can David say to you? For you know your servant, O Sovereign Father. “Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.
21 For your word's sake and your own heart, you have done all this greatness, making it known to your servant. Olw’ekigambo kyo n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, n’obimanyisa omuddu wo.
22 So you are great, Sovereign Father. There is none like you, and no God but you, from all we have heard with our own ears. “Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.
23 Who is like your people Israel, the one nation on earth our Father went out to redeem as a people for himself, making a name for himself, doing for you great and awesome things—driving out nations and their gods before your people, whom you redeemed for yourself from Egypt? Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri?
24 You made your people Israel your own forever, and you, our Father, became their Father. Onywezezza abantu bo, Isirayiri ng’ababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.
25 And now, our Father, keep forever the word you spoke about your servant and his house, and do as you promised.' “Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza,
26 Your name will be great forever, and people will say, 'The Father of heaven's armies is God over Israel.' The house of your servant David will stand firm before you. erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, ‘Mukama ow’Eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era n’ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
27 For you, Father of heaven's armies, God of Israel, revealed this to your servant: 'I will build you a house.' So your servant found courage to pray this prayer to you. “Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli.
28 And now, Sovereign Father, you are God, your words are true, and you promised this good thing to your servant. Ayi Mukama Katonda, oli Katonda, n’ebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi.
29 So now, please bless your servant's house, that it may last forever before you. For you, Sovereign Father, have spoken, and with your blessing your servant's house will be blessed forever." Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]