Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, David defeated the Philistines and subdued them, and he took Metheg-ammah from the Philistines. Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.
2 He also defeated Moab. He made them lie on the ground and measured them with a cord: two lengths to die, one full length to live. So Moab became David's servants and brought tribute. Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu.
3 David also defeated Hadadezer son of Rehob, king of Zobah, as he went to restore his control at the Euphrates River. Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati.
4 David captured from him 1,700 horsemen and 20,000 foot soldiers, and hamstrung all the chariot horses, keeping enough for one hundred chariots. Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.
5 When Aram of Damascus came to help Hadadezer king of Zobah, David killed 22,000 Arameans. Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo.
6 David set garrisons in Aram of Damascus, and the Arameans became his servants, bringing tribute. Our Father gave David victory wherever he went. Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
7 David took the gold shields that belonged to the servants of Hadadezer and brought them to Jerusalem. Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi.
8 And from Betah and Berothai, cities of Hadadezer, King David took a great quantity of bronze. Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.
9 When Toi king of Hamath heard that David had defeated the entire army of Hadadezer, Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri,
10 he sent his son Joram to King David to greet and congratulate him for fighting and defeating Hadadezer, who had been at war with Toi. Joram brought items of silver, gold, and bronze. n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.
11 King David dedicated these also to our Father with the silver and gold he had dedicated from all the nations he subdued, Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula.
12 from Aram, Moab, the Ammonites, the Philistines, Amalek, and the plunder of Hadadezer son of Rehob, king of Zobah. Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.
13 David made a name for himself returning from striking down 18,000 Edomites in the Valley of Salt. Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.
14 He put garrisons throughout Edom—in all Edom he placed garrisons—and all the Edomites became servants to David. Our Father gave David victory wherever he went. N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
15 So David reigned over all Israel, administering justice and righteousness for all his people. Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima.
16 Joab son of Zeruiah commanded the army; Jehoshaphat son of Ahilud was the court recorder; Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza,
17 Zadok son of Ahitub and Ahimelech son of Abiathar were priests; Seraiah was the court secretary; Zadooki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi,
18 Benaiah son of Jehoiada commanded the Kerethites and the Pelethites; and David's sons were priests. Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]