Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Ahithophel said to Absalom, "Let me pick 12,000 men and set out tonight after David. Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino.
2 I will attack him while he is weary and weak, panic him, and all his people will flee; then I will strike down only the king. Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta,
3 I will bring all the people back to you. The one man you seek—his death means everyone returns, and all the people will be at peace." naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.”
4 This plan seemed good to Absalom and all the elders of Israel. Ekigambo ekyo Abusaalomu n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima.
5 Absalom said, "Call Hushai the Archite too, and let's hear what he also says." Naye Abusaalomu n’ayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire ky’anaayogera ku nsonga eyo.”
6 When Hushai came to him, Absalom said, "Ahithophel advised this. Should we do what he says? If not, you speak." Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?
7 Hushai said to Absalom, "The counsel Ahithophel has given is not good this time. Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi g’abawadde si malungi ku mulundi guno.
8 Hushai added, "You know your father and his men—fierce warriors, like a bear robbed of her cubs in the field. Your father is a seasoned fighter; he won't sleep with the troops." Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale.
9 Even now he's hidden in a pit or elsewhere. If some of your men fall first, whoever hears will say, 'Absalom's men have been slaughtered!' Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’
10 Then even the bravest, whose heart is a lion's heart, will melt with fear, for all Israel knows your father is a warrior and those with him are brave. Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira.
11 So here is my counsel: gather all Israel to you, from Dan to Beersheba, as many as the sand by the sea, and go into battle yourself. “Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo.
12 We'll reach him wherever he is, settle on him like dew on the ground, and leave alive neither him nor any of his men. Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu.
13 If he pulls back into a city, all Israel will bring ropes there, and we will drag it into the valley until not a pebble is left." Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.”
14 Absalom and all the men of Israel said, "Hushai the Archite's counsel is better than Ahithophel's." For our Father had determined to defeat Ahithophel's good counsel, so our Father could bring disaster on Absalom. Awo Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki ky’aleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” Mukama yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu.
15 Hushai told the priests Zadok and Abiathar, "This is what Ahithophel advised Absalom and Israel's elders, and this is what I advised. Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati.
16 Now send word quickly to David: 'Don't stay tonight at the wilderness fords; cross over without fail, or the king and all the people with him will be swallowed up.'" Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ”
17 Jonathan and Ahimaaz waited at En-rogel; a servant girl would go and tell them, and they would go and tell King David, for they could not be seen entering the city. Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, n’oluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga.
18 But a young man saw them and told Absalom. So the two hurried off and reached a man's house at Bahurim, who had a well in his courtyard, and they climbed down into it. Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
19 The man's wife spread a covering over the well's mouth and scattered grain on it, so nothing was noticed. Omukyala we n’addira ekisaanikira n’asaanikira ku kamwa k’oluzzi, n’ayiwako eŋŋaano n’agisaasaanyizaako. Ne wataba n’omu eyakitegeera.
20 When Absalom's servants came to the woman at the house, they asked, "Where are Ahimaaz and Jonathan?" She said, "They crossed the brook." The men searched, found no one, and returned to Jerusalem. Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.
21 After they left, the two climbed out of the well and went and reported to King David. They said to him, "Get up and cross the water quickly, for Ahithophel has plotted this against you." Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.”
22 So David and everyone with him got up and crossed the Jordan. By daybreak not one was left who had not crossed it. Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani.
23 When Ahithophel saw his advice was not followed, he saddled his donkey and went home to his town. He set his house in order, then hanged himself. He died and was buried in his father's tomb. Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, n’agenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. N’ateekateeka ennyumba ye, n’oluvannyuma ne yeetuga. N’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe.
24 David came to Mahanaim, while Absalom crossed the Jordan with all the men of Israel beside him. Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani.
25 Absalom had set Amasa over the army instead of Joab. Amasa's father was Ithra the Israelite, who had married Abigail daughter of Nahash, sister of Zeruiah, Joab's mother. Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
26 Israel and Absalom camped in the land of Gilead. Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27 When David reached Mahanaim, Shobi son of Nahash from Rabbah of the Ammonites, Machir son of Ammiel from Lo-debar, and Barzillai the Gileadite from Rogelim, Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba eky’Abamoni, ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow’e Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi ow’e Logerimu,
28 brought beds, basins, and pottery, along with wheat, barley, flour, roasted grain, beans, lentils, ne bamuleetera ebyokwebikka, n’ebibya, n’entamu, n’eŋŋaano, ne sayiri, n’obutta, n’eŋŋaano ensiike, n’ebijanjaalo, n’empindi, ne mpokya omusiike,
29 honey, curds, sheep, and cheese from the herd for David and his people to eat, for they said, "The people are hungry, tired, and thirsty in the wilderness." n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]