Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When David had passed a little beyond the summit, Ziba, Mephibosheth's servant, met him with a pair of saddled donkeys carrying 200 loaves, one hundred raisin clusters, one hundred summer fruits, and a skin of wine. Awo Dawudi bwe yali ng’atambuddeko ebbanga ttono n’okuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi n’ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n’ebirimba eby’ezabbibu enkalu kikumi, n’ebirimba eby’ebibala eby’ekyeya kikumi, n’ekita kya wayini.
2 The king asked Ziba, "Why have you brought these?" Ziba said, "The donkeys for the king's household to ride, the bread and summer fruit for the young men to eat, the wine for whoever grows faint in the wilderness to drink." Kabaka n’abuuza Ziba nti, “Bino oleese bya ki?” Ziba n’addamu nti, “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga, n’emigaati n’ebibala bya bavubuka okulya, ne wayini, w’abo abaliyongobera mu ddungu.”
3 The king asked, "Where is your master's son?" Ziba answered, "He is staying in Jerusalem, for he said, 'Today the house of Israel will return my father's kingdom to me.'" Kabaka n’amubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”
4 The king told Ziba, "Everything Mephibosheth owned is now yours." Ziba said, "I bow before you. May I find favor with you, my lord the king." Awo kabaka n’agamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba n’ayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”
5 When King David reached Bahurim, a man from Saul's family, Shimei son of Gera, came out cursing continually. Awo kabaka Dawudi bwe yali ng’anaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja ow’omu kika ky’ennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; n’akolima nga bw’asembera okumpi ne we baali.
6 He threw stones at David and all King David's servants, while all the people and all the mighty warriors were on his right and left. N’akasuukirira Dawudi n’abakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna n’abakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono.
7 As he cursed, Shimei said: "Get out, get out, you man of bloodshed, you worthless man! Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali!
8 Our Father has returned on you all the blood of Saul's house, in whose place you reigned, and our Father has given the kingdom into the hand of your son Absalom. Now you are caught in your own evil, for you are a man of blood." Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”
9 Then Abishai son of Zeruiah said to the king, "Why let this dead dog curse my lord the king? Let me go over and cut off his head." Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.”
10 But the king said, "What does this concern you, sons of Zeruiah? If he curses because our Father told him, 'Curse David,' who can ask, 'Why have you done this?'" Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”
11 David told Abishai and all his servants, "My own son, from my own body, wants to kill me; how much more this Benjamite! Leave him, let him curse, for our Father told him to. Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde.
12 Maybe our Father will see my misery and repay me good for today's cursing. Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange n’ansasula obulungi olw’okukolima okwo.”
13 David and his men went on along the road, while Shimei kept pace on the hillside opposite, cursing as he went, throwing stones at him and flinging dust." Awo Dawudi n’abasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi n’ayitira ku lusozi okumwolekera nga bw’akolima, nga bw’amukasuukirira amayinja n’enfuufu.
14 The king and all the people with him arrived weary, and there he refreshed himself. Kabaka n’abantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye. N’aweereraweerera eyo.
15 Meanwhile Absalom and all the people, the men of Israel, came to Jerusalem, and Ahithophel was with him. Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye.
16 When Hushai the Archite, David's friend, came to Absalom, Hushai said to Absalom, "Long live the king! Long live the king!" Awo Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, n’ajja eri Abusaalomu n’ayogera nti, “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!”
17 Absalom asked Hushai, "Is this your loyalty to your friend? Why didn't you go with your friend?" Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti, “Bw’otyo bw’olaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?”
18 Hushai said to Absalom, "No; the one our Father and this people and all Israel's men have chosen—I'll be his, and stay with him. Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gw’anaalonda, n’abantu bano, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abanga wuwe era n’abeeranga naye.
19 Besides, whom should I serve? Should it not be his son? As I served your father, I'll serve you." Era nate n’aweereza ani okuggyako mutabani we? Nga bwe naweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga.”
20 Then Absalom said to Ahithophel, "Give us your counsel. What should we do?" Abusaalomu n’agamba Akisoferi nti, “Tuwe ku magezi. Tunaakola tutya?”
21 Ahithophel told Absalom, "Sleep with your father's concubines, whom he left to keep the house. Then all Israel will hear you've made yourself reek to your father, and everyone with you will be strengthened." Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.”
22 So they pitched a tent for Absalom on the roof, and he slept with his father's concubines before all Israel. Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.
23 Back then Ahithophel's counsel was like consulting our Father directly; both David and Absalom regarded all his counsel that way. Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]