Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 David mustered his troops and appointed commanders of thousands and commanders of hundreds over them. Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi.
2 David sent out the troops: a third under Joab, a third under Abishai son of Zeruiah, Joab's brother, and a third under Ittai the Gittite. The king told the troops, "I will surely go out with you too." Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”
3 But the troops said, "Don't go out. If we flee, they won't care; if half of us die, they won't care. You are worth 10,000 of us. Better you stay in the city, ready to send us help." Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.”
4 The king told them, "I'll do whatever seems best to you." Then he stood at the gate as all the troops marched out by hundreds and by thousands. Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi.
5 The king commanded Joab, Abishai, and Ittai, "Be gentle with the young man Absalom, for my sake." All the troops heard the king commanding the commanders about Absalom. Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.” Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu.
6 The troops went out to the field against Israel, and the battle happened in the forest of Ephraim. Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
7 There Israel's army was defeated by David's men, and the slaughter that day was great: 20,000 men. Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri.
8 The battle spread across the whole region, and the forest devoured more troops that day than the sword devoured. Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala.
9 Absalom encountered David's men. Riding his mule, he passed under the thick branches of a great oak, and his head caught fast in the tree. He hung between heaven and earth as the mule went on beneath him. Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso.
10 A certain man saw it and told Joab, "I just saw Absalom hanging in an oak." Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.”
11 Joab said to the man who told him, "So you saw him! Why then did you not strike him to the ground there? I'd have owed you ten days' wages in silver and a belt." Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”
12 But the man told Joab, "Even if 1,000 days' wages in silver were weighed into my palm, I wouldn't raise my hand against the king's son. For we all heard the king order you, Abishai, and Ittai, 'Protect the young man Absalom for my sake.' Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’
13 Otherwise I'd have thrown away my life, for nothing is hidden from the king, and you'd have stood apart from me." Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”
14 Joab said, "I won't waste time with you like this." He took three javelins in his hand, drove them into Absalom's heart while he was still alive, in the oak's heart. Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera.
15 And ten young men, Joab's armor-bearers, surrounded Absalom, struck him, and killed him. N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.
16 Joab blew the ram's horn, and the troops stopped chasing Israel, for Joab held them back. Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza.
17 They took Absalom, threw him into a big forest pit, and heaped a huge pile of stones over him. All Israel fled, each to his own home. Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.
18 During his lifetime Absalom had set up a pillar in the King's Valley, saying, "I have no son to keep my name remembered." He named the pillar after himself, and it is called Absalom's Monument to this day. Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
19 Ahimaaz son of Zadok said, "Let me run and tell the king our Father has vindicated him against his enemies." Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.”
20 Joab said, "You're not the man to carry news today. You may carry news another day, but today you will carry none, for the king's son is dead." Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
21 Joab said to the Cushite, "Go, tell the king what you saw." The Cushite bowed to Joab and ran. Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka.
22 Ahimaaz son of Zadok said to Joab again, "Come what may, please let me also run after the Cushite." Joab replied, "Why run, my son? You have no news worth a reward." Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?”
23 "Whatever happens," he said, "I'll run." "Run," Joab said. So Ahimaaz ran the plain route and outran the Cushite. N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.” Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.
24 David was sitting between the two gates. The watchman went up to the gate roof at the wall, lifted his eyes, and saw a man running alone. Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka.
25 The watchman called out, telling the king. The king said, "If alone, he brings news." The runner kept coming closer. Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera.
26 The watchman saw another man running and called to the gatekeeper, "Look, another man running alone!" The king said, "He too brings news." Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”
27 The watchman said, "The first one runs like Ahimaaz son of Zadok." The king said, "He is a good man; he comes with good news." Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”
28 Ahimaaz called to the king, "All is well!" He bowed before the king, face to the ground, and said, "Blessed be your Father, who handed over those who rebelled against my lord the king." Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”
29 The king asked, "Is the young man Absalom safe?" Ahimaaz answered, "When Joab sent off the king's servant and me your servant, I saw a great commotion, but I did not know what it was." Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”
30 The king said, "Step aside and stand here." So he stepped aside and stood still. Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo.
31 The Cushite arrived and said, "Good news, my lord the king! Today the LORD cleared you from the hand of all who rose against you." Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”
32 The king asked the Cushite, "Is the young man Absalom safe?" The Cushite answered, "May my lord the king's enemies, and all who rise against you to harm you, be like that young man." Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”
33 The king trembled. He went up to the gate's upper room, weeping, saying as he walked: "My son Absalom! My son, my son, Absalom! If only I had died instead of you, Absalom, my son, my son!" Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]