Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Word reached Joab: "Look, the king is weeping and mourning for Absalom." Yowaabu n’ategeezebwa nti, “Kabaka akaaba era akungubagira Abusaalomu.”
2 So that day the victory became mourning for all the people, because they heard that day, "The king grieves over his son." Ku lunaku olwo obuwanguzi ne bufuuka okukungubaga eri abantu bonna, kubanga baawulira nti, “Kabaka anakuwadde olwa mutabani we.”
3 The people crept into the city that day, like those shamed and slinking away after fleeing battle. Abantu ne bebbirira ne bayingira mu kibuga, ng’abantu abakwatiddwa ensonyi bwe bafaanana nga badduse mu lutalo.
4 The king covered his face, crying loudly, "My son Absalom! Absalom, my son, my son!" Kabaka n’abikka amaaso ge n’akaaba n’eddoboozi ddene nti, “Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!”
5 Joab came to the king and said, "Today you have shamed all your servants, who this day saved your life, the lives of your sons and daughters, and the lives of your wives and concubines, Awo Yowaabu n’alaga mu nnyumba kabaka gye yali n’amugamba nti, “Leero oswazizza abaweereza bo, abawonyezza obulamu bwo, n’obulamu bwa batabani bo ne bawala bo, n’obulamu bwa bakyala bo n’abazaana bo.
6 by loving those who hate you and hating those who love you. Today you've shown that commanders and servants mean nothing to you. Now I know that if Absalom lived and we all had died, you'd be pleased. Oyagala abakukyawa ate n’okyawa abakwagala. Leero okikakasizza ng’abaduumizi n’abaweereza si kintu gy’oli. Era kindabikira nga singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde leero, wandisanyuse.
7 Now get up, go out, and speak kindly to your servants. I swear by our Father, if you don't go out, not one man will stay with you tonight—worse for you than all the trouble you've had since your youth." Kale nno golokoka ogende ogumye emyoyo gy’abaweereza bo, kubanga nkulayirira eri Mukama, nga bwe wataabeewo musajja n’omu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kye kirisingako obubi okusinga obubi bwonna bwe wali olabye okuva mu buto bwo.”
8 So the king got up and sat in the gate. When the people were told, "Look, the king is sitting in the gate," they all came before him. Now Israel had fled, everyone to his home. Awo kabaka n’agolokoka, n’addira entebe ye n’agiteeka mu mulyango ogwa wankaaki, bonna ne bajja gy’ali. Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baali baddukidde buli muntu ewuwe.
9 Throughout the tribes of Israel the people argued: "The king saved us from our enemies, rescued us from the Philistines, but now he's fled the land because of Absalom. Abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri baali bakaayana nga boogera nti, “Kabaka yatuwonya mu mukono gw’abalabe baffe, n’atuwonya ne mu mukono gw’Abafirisuuti, kaakano adduse Abusaalomu n’ava mu nsi.
10 But Absalom, whom we anointed to rule us, died in battle. So why say nothing about bringing the king back?" Naye Abusaalomu gwe twalonda okutufuga afiiridde mu lutalo. Kaakano kiki ekitulobera okukomyawo kabaka?”
11 King David sent word to Zadok and Abiathar the priests: "Tell the elders of Judah, 'Why be the last to bring the king back home, when all Israel's word has reached the king at his home?' Awo kabaka Dawudi n’atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Mubuuze abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe, ebigambo nga byatuuse dda ku kabaka okuva mu Isirayiri yenna?
12 You are my brothers, my own flesh and blood. So why should you be last to bring back the king? Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange era musaayi gwange, naye lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka?’
13 Say to Amasa, 'Aren't you my own flesh and blood? May our Father do this to me and more if you don't become my permanent army commander, replacing Joab.'" Ate mugambe ne Amasa nti, ‘Toli mubiri gwange era musaayi gwange? Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bw’otobeere muduumizi wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva ne kaakano.’ ”
14 David won over all the men of Judah as one man, and they sent word to the king: "Return, you and all your servants." N’awamba emitima gy’abantu bonna aba Yuda ne baba omuntu omu, ne baweereza obubaka eri kabaka nti, “Mukomeewo, ggwe n’abaweereza bo bonna.”
15 The king returned and came to the Jordan; Judah came to Gilgal to meet the king and bring him across the Jordan. Awo kabaka n’addayo n’atuuka ku Yoludaani. Abantu ba Yuda ne bajja e Girugaali okusisinkana kabaka, n’okumusomosa Yoludaani.
16 Shimei son of Gera, the Benjaminite from Bahurim, rushed down with Judah's men to meet King David. Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu n’aserengeta mangu n’abasajja ba Yuda okusisinkana kabaka Dawudi.
17 With him were 1,000 Benjamites, and Ziba, servant of Saul's house, with his fifteen sons and twenty servants. They rushed to the Jordan ahead of the king, Yagenda n’Ababenyamini lukumi, ne Ziba omuddu w’ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n’abaweereza be amakumi abiri. Ne banguwa okulaga ku Yoludaani kabaka gye yali.
18 and crossed the ford to bring the king's household over and do what pleased him. Shimei son of Gera fell before the king as he was about to cross the Jordan, Ne basomosa ennyumba ya Dawudi, era ne bakola ng’okusiima kwe bwe kwali. Awo Simeeyi mutabani wa Gera n’asomoka Yoludaani, n’agwa bugazi mu maaso ga kabaka,
19 and said, "Please, my lord, don't hold this against me, and don't remember how your servant did wrong the day my lord the king left Jerusalem. Please, my lord the king, don't take it to heart. n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange ansonyiwe, aleme okujjukira ebisobyo bye nakola ku lunaku luli, mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi. Kabaka aleme okukijjukira.
20 Your servant knows I have sinned. So today I've come first of all Joseph's house to meet my lord the king." Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nga nayonoona, naye leero mu nnyumba eya Yusufu nze nsoose okujja okusisinkana mukama wange kabaka.”
21 Then Abishai son of Zeruiah said, "Shouldn't Shimei be put to death for cursing our Father's anointed?" Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’ayogera nti, “Lwaki Simeeyi tattibwa olw’okukolimira omulonde wa Mukama?”
22 David said, "Why meddle with me, sons of Zeruiah? Why should you become my enemies today? Should anyone be put to death in Israel today? Don't I know that today I am king over Israel?" Naye Dawudi n’amuddamu nti, “Kiki ekitugatta nze nammwe batabani ba Zeruyiya, mulyoke mufuuke abalabe bange olwa leero? Lwaki omuntu yenna attibwa mu Isirayiri olwa leero, ate nga mmanyi nga nze kabaka wa Isirayiri leero?”
23 The king told Shimei, "You will not die," and the king swore to him. Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Tojja kufa.” Era kabaka n’amulayirira.
24 Mephibosheth, Saul's grandson, came down to meet the king. He had not tended his feet, trimmed his beard, or washed his clothes from the day the king left until he came back safely. Mefibosesi muzzukulu wa Sawulo naye n’aserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga bigere bye newaakubadde okumwa ekirevu kye newaakubadde okwoza engoye ze, okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.
25 When he reached Jerusalem to meet the king, the king asked, "Why didn't you go with me, Mephibosheth?" Awo bwe yatuuka okuva e Yerusaalemi n’asisinkana kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugenda nange Mefibosesi?”
26 He said, "My lord the king, my servant tricked me. Your servant said, 'I'll saddle my donkey and ride with the king,' for your servant is lame. N’addamu nti, “Mukama wange, kabaka, okimanyi nga omuweereza wo mulema. Nagamba omuddu wange nti, ‘Ntekerateekera endogoyi, njebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye n’ambuzaabuza, n’abulawo.
27 He slandered your servant to my lord the king. But my lord the king is like the angel of our Father; do what seems good to you. Yajja eri mukama wange kabaka n’ayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bw’osiima.
28 All my father's house deserved only death from my lord the king, yet you set your servant among those who eat at your table. What right have I to appeal to the king again?" Ab’ennyumba ya jjajjange bonna baali basaanira kufa bufi mu maaso ga mukama wange kabaka, naye nange n’omala gansaasira n’onzikiriza okuba ku abo abatuula ku mmeeza yo. Kale kiki kye sifunye okuva eri kabaka?”
29 The king said, "Why say more about your affairs? I've decided: you and Ziba will divide the land." Awo kabaka n’amugamba nti, “Lwaki weeyongera okweyogerako? Ndagidde kaakano, ggwe ne Ziba mugabane ettaka eryo.”
30 Mephibosheth said to the king, "Let him take it all, now that my lord the king has come home safely." Mefibosesi n’agamba kabaka nti, “Atwale lyonna, kubanga mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu bwakabaka bwe.”
31 Barzillai the Gileadite came down from Rogelim and crossed the Jordan with the king, to see him off. Baluzirayi Omugireyaadi naye n’aserengeta okuva e Logerimu n’agenda okusomosa kabaka, Yoludaani.
32 Barzillai, very old at eighty, had fed the king during his stay at Mahanaim, for he was a very wealthy man. Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ng’awezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo.
33 The king told Barzillai, "Cross over with me, and I will provide for you at my side in Jerusalem." Awo kabaka n’agamba Baluzirayi nti, “Somoka nange, tugende ffenna e Yerusaalemi, n’akulabiriranga.”
34 Barzillai said to the king, "How many years do I have left, that I should go up with the king to Jerusalem? Naye Baluzirayi n’addamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi?
35 I am eighty years old today. Can I tell good from bad? Can your servant taste what he eats or drinks? Can I still hear singing men and women? Why should your servant burden my lord the king further? Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka?
36 Your servant will cross the Jordan with the king a short way. Why should the king repay me with such a reward? Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo.
37 Please let your servant return to die in my own city near my father and mother's grave. But your servant Chimham is here; let him cross over with my lord the king, and do for him what seems good to you." Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi n’ebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne mukama wange kabaka, onoomukolera byonna nga bw’onoosiima.”
38 The king said, "Chimham will cross with me, and I will do for him what pleases you, and whatever you ask of me I will do for you." Kabaka n’ayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bw’olisiima; ne kyonna ky’onooyagala n’akikukolera.”
39 All the people crossed the Jordan, and the king crossed. The king kissed Barzillai and blessed him, and Barzillai returned home. Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka n’asomoka nabo. Kabaka n’anywegera Baluzirayi n’amusabira omukisa, n’addayo ewuwe.
40 The king crossed to Gilgal, Chimham with him. All Judah's people, and half of Israel's, escorted the king. Kabaka n’agenda e Girugaali ne Kimamu n’agenda naye; abantu bonna aba Yuda, n’ekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.
41 Then all the men of Israel came to the king and asked, "Why did our brothers, the men of Judah, steal you away and bring the king and his household across the Jordan, with all David's men?" Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye n’ennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani n’abasajja be?”
42 All the men of Judah answered the men of Israel, "The king is our close relative. Why are you angry about this? Have we eaten any of the king's food, or has he given us a gift?" Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”
43 The men of Israel answered the men of Judah, "We have ten shares in the king, and a greater claim on David than you. So why did you despise us? Weren't we first to speak of bringing back our king?" But Judah's words were harsher than Israel's. Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. N’ekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe n’okusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky’okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo eby’abasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo n’okusinga ebigambo eby’abasajja ba Isirayiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]