Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 A worthless man named Sheba son of Bichri, a Benjamite, was there. He blew the trumpet and shouted, "We have no share in David, no inheritance in Jesse's son! Everyone to your tents, Israel!" Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi, so tetulina busika mu mutabani wa Yese! Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
2 So all Israel's men abandoned David to follow Sheba son of Bichri; but Judah's men held to their king, from the Jordan to Jerusalem. Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.
3 David came to his house in Jerusalem, and the king took the ten concubines he had left to keep the house and put them under guard. He provided for them but did not sleep with them. They stayed confined until they died, living as widows. Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
4 The king told Amasa, "Call the men of Judah to me within three days, and be here yourself." Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.”
5 Amasa went to summon Judah, but delayed beyond the time the king had set for him. Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde.
6 David told Abishai, "Sheba son of Bichri will now harm us more than Absalom. Take your lord's men and chase him, or he'll reach fortified cities and escape us." Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.”
7 So Joab's men, the Cherethites, the Pelethites, and all the mighty warriors went out after him from Jerusalem to pursue Sheba son of Bichri. Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
8 At the great stone in Gibeon, Amasa met them. Joab wore his military tunic, with a belted sword in its sheath on his waist; as he stepped forward, it fell out. Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
9 Joab said to Amasa, "Are you well, my brother?" With his right hand Joab grasped Amasa's beard to kiss him. Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera.
10 Amasa did not notice the sword in Joab's hand. Joab struck his belly, spilling his intestines to the ground. Without a second blow, Amasa died. Then Joab and his brother Abishai pursued Sheba son of Bichri. Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
11 One of Joab's young men stood by Amasa and said, "Whoever favors Joab, whoever is for David—follow Joab!" Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.”
12 Amasa lay wallowing in his blood in the middle of the road. When the man saw all the troops stopping there, he dragged Amasa from the road into the field and threw a garment over him, since everyone who came by stopped. Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye.
13 Once he was moved off the road, all the men followed Joab to pursue Sheba son of Bichri. Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
14 Sheba passed through all the tribes of Israel to Abel of Beth Maacah; all the Bicrites gathered and followed him too. Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera.
15 They came and besieged him in Abel of Beth Maacah. They raised a siege ramp against the city, standing against the outer rampart, while all Joab's troops battered the wall to bring it down. Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe,
16 Then a wise woman called from the city, "Listen! Listen! Tell Joab, 'Come here, so I can speak with you.'" ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.”
17 As he approached, the woman asked, "Are you Joab?" "I am," he said. She said, "Hear your servant's words." "I'm listening," he said. Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N’addamu nti, “Nze nzuuyo.” N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.” N’addamu nti, “Mpuliriza.”
18 She said, "In the old days they used to say, 'Just ask for counsel at Abel,' and that settled the matter. N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga.
19 I am among the peaceful and faithful in Israel. You are trying to destroy a city, a mother in Israel. Why swallow up our Father's inheritance?" Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
20 Joab answered, "I would never, never swallow up or destroy! Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza.
21 Not so. But Sheba son of Bichri, from the hills of Ephraim, has rebelled against the king, against David. Hand over this one man, and I'll pull back from the city." The woman told Joab, "His head will be thrown to you over the wall." Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
22 The woman went to all the people with her wise plan. They cut off the head of Sheba son of Bichri and threw it to Joab. He blew the trumpet, and they scattered from the city, each to his home. Joab returned to the king in Jerusalem. Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
23 Joab led all Israel's army; Benaiah son of Jehoiada led the Cherethites and Pelethites. Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.
24 Adoram was in charge of the forced labor; Jehoshaphat son of Ahilud was the recorder; Adolaamu ye yakuliranga abapakasi, Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
25 Sheva was secretary; and Zadok and Abiathar were priests; Seva ye yali omuwandiisi, Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,
26 and Ira the Jairite was also David's priest. ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]