Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now there was a famine in the days of David for three years, year after year; so David asked our Father about it. And our Father said, "There is bloodguilt on Saul and on his house, because he put the Gibeonites to death." Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”
2 So the king summoned the Gibeonites and spoke to them. (The Gibeonites were not Israelites but a remnant of the Amorites; Israel had sworn to spare them, yet Saul, passionate for Israel and Judah, had sought to kill them.). Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.)
3 David asked the Gibeonites, "What can I do for you? How can I make atonement so you'll bless our Father's people?" Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?”
4 The Gibeonites said, "It is not silver or gold between us and Saul or his house, and we have no right to kill anyone in Israel." David said, "Whatever you say, I will do for you." Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?”
5 They said to the king, "The man who wiped us out and plotted our destruction, so we'd have no place left anywhere in Israel's territory, Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri,
6 let seven men of his descendants be handed over to us, and we will hang them before the LORD at Gibeah of Saul, the LORD's chosen one." The king said, "I will hand them over." tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”
7 But the king spared Mephibosheth, son of Jonathan, son of Saul, because of the oath before our Father between David and Jonathan, Saul's son. Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo.
8 But the king took Armoni and Mephibosheth, the two sons Rizpah daughter of Aiah bore to Saul, along with the five sons Merab daughter of Saul bore to Adriel son of Barzillai the Meholathite. Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo.
9 He handed them to the Gibeonites, who hanged them on the mountain before our Father; the seven fell together. They were put to death in the first days of harvest, as the barley harvest began. N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
10 Then Rizpah daughter of Aiah took sackcloth and spread it on the rock, from the start of harvest until rain fell on the bodies; by day she kept the birds off them, by night the wild animals. Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro.
11 When David was told what Rizpah the daughter of Aiah, Saul's concubine, had done, Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola,
12 he went to the men of Jabesh-gilead and took the bones of Saul and his son Jonathan, which they had secretly removed from Beth-shan's square, where the Philistines hung them the day they killed Saul at Gilboa. n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani.
13 He brought up Saul's bones and his son Jonathan's bones from there, and they gathered the bones of the hanged men. Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.
14 They buried the bones of Saul and his son Jonathan at Zela in Benjamin, in the tomb of his father Kish, and did all the king commanded. After that, our Father answered the prayers for the land. Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.
15 Again there was war between the Philistines and Israel. David went down with his servants to fight the Philistines, and he grew tired. Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo.
16 Ishbi-benob, a descendant of Rapha whose bronze spearhead weighed about seven and a half pounds and who wore a new sword, was about to strike David down. Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi.
17 But Abishai son of Zeruiah came to David's aid, struck the Philistine down and killed him. Then David's men swore to him, "Never again go out with us to battle, or you'll put out the lamp of Israel." Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
18 Later there was another war with the Philistines at Gob. Sibbecai the Hushathite struck down Saph, one of the descendants of Rapha. Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu.
19 There was another war with the Philistines at Gob, where Elhanan son of Jaare-oregim the Bethlehemite killed Goliath the Gittite, whose spear shaft was like a weaver's beam. Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
20 War broke out again at Gath, where a huge man had six fingers on each hand and six toes on each foot—twenty-four in all; he too was born to Rapha. Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo.
21 And when he taunted Israel, Jonathan the son of Shimei, David's brother, struck him down. Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.
22 These four descended from Rapha in Gath, and fell by the hand of David and his servants. Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]