Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 David spoke to our Father the words of this song when our Father rescued him from the hand of all his enemies and from the hand of Saul. Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo.
2 He said: My Father is my rock, my fortress, my rescuer. N’ayogera nti, “Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
3 My Father, my rock, in whom I take refuge, my shield and the power of my salvation, my stronghold and my refuge, my savior—you save me from violence. Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange. Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange; ggwe ondokola eri abantu ababi.
4 I call upon my Father, who is worthy of praise, and I am saved from my enemies. Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, n’andokola eri abalabe bange.
5 For the waves of death engulfed me; the torrents of destruction terrified me. “Amayengo ag’okufa ganzingiza; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
6 The cords of the grave entangled me; the snares of death confronted me. Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
7 In my distress I called upon my Father; I cried out to my God for help. From his temple he heard my voice, and my cry reached his ears. Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; n’okukaaba kwange kwamutuukako.
8 Then the earth shook and quaked; the foundations of the heavens trembled and shook, because he was angry. “Ensi n’ekankana n’ejjugumira, emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa, ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
9 Smoke rose from his nostrils, and consuming fire came from his mouth; burning coals blazed from him. Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, n’omuliro ne guva mu kamwa ke, n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 He parted the heavens and came down, with dark clouds beneath his feet. Yayabuluza eggulu n’akka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 He mounted a cherub and flew; he soared on the wings of the wind. Ne yeebagala kerubi n’abuuka, n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12 He made darkness his canopy around him—the dark rain clouds of the skies. Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira, n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 Out of the brightness before him blazed coals of fire. Okumasamasa okwali mu maaso ge kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 My Father thundered from heaven; the Most High raised his voice. Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 He shot his arrows and scattered his foes, hurled lightning and routed them. Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 The channels of the sea appeared, the foundations of the world were laid bare at the rebuke of my Father, at the blast of breath from his nostrils. Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeruka olw’okunenya kwa Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
17 He reached down from on high and took hold of me; he drew me out of deep waters. “Yasinzira waggulu n’antwala n’ansika mu mazzi amangi.
18 He rescued me from my powerful enemy, from my foes who were too strong for me. Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
19 They confronted me in the day of my disaster, but my Father was my support. Bannumba mu nnaku yange naye Mukama n’ampanirira.
20 He brought me out into a spacious place; he rescued me because he delighted in me. Yandeeta mu kifo ekigazi; yandokola kubanga yansanyukira.
21 My Father dealt with me according to my righteousness; according to the purity of my hands he rewarded me. “Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali; n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 For I have kept the ways of my Father; I have not wickedly turned from my God. Ntambulidde mu kkubo lya Mukama, era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 All his judgments are before me; I have not turned aside from his statutes. Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange, era ssaava ku biragiro bye.
24 I was blameless before him, and I kept myself free from my guilt. Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 So my Father rewarded me according to my righteousness, according to my purity in his sight. Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
26 To the faithful you show yourself faithful; to the blameless you show yourself blameless. “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 To the pure you show yourself pure, but to the crooked you show yourself shrewd. eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 You save the afflicted people, but your eyes are on the haughty, to bring them low. Olokola abantu abawombeefu, naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 For you are my lamp, my Father; he turns my darkness into light. Oli ttaala yange, Ayi Mukama era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30 With you I can charge an army; with my Father I can leap over a wall. Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 As for my Father, his way is perfect; the word of my Father is flawless. He is a shield to all who take refuge in him. Ekkubo lya Katonda golokofu, n’ekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gy’ali.
32 For who is God but our Father? And who is a rock except our Father? Kubanga ani Katonda wabula Mukama, era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33 My Father is my strong refuge; he makes my way blameless. Katonda kye kiddukiro kyange, era alongoosa ekkubo lyange.
34 He makes my feet like the feet of a deer and sets me secure on the heights. Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi, era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 He trains my hands for battle, so that my arms can bend a bow of bronze. Anteekateeka okulwana entalo, era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 You have given me the shield of your salvation, and your gentleness has made me great. Ompadde engabo ey’obulokozi bwo, ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 You widen the path beneath me, so that my ankles do not give way. Ogaziyizza ekkubo mwe mpita, n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
38 I pursued my enemies and destroyed them; I did not turn back until they were finished. “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza, so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 I consumed them and shattered them so they could not rise; they fell beneath my feet. Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka, era bali wansi w’ebigere byange.
40 You armed me with strength for battle; you made my adversaries bow beneath me. Wampa amaanyi okulwana entalo, n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 You made my enemies turn their backs in flight, and those who hated me I destroyed. Waleetera abalabe bange okunziruka, ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 They looked, but there was no one to save them—even to my Father, but he gave no answer. Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera, ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 I ground them as fine as the dust of the earth; I crushed and trampled them like mud in the streets. Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi, ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
44 You delivered me from the strife of my people; you kept me as head of nations; a people I did not know now serves me. “Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange, n’onfuula omukulu w’amawanga; abantu be saamanya be bampeereza.
45 Foreigners cower before me; as soon as they hear, they obey me. Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira, bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 Foreigners lose heart; they come trembling from their strongholds. Bonna baggwaamu omwoyo, ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
47 My Father lives! Blessed be my Rock! Exalted be my Father, the Rock of my salvation! “Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe. Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 It is my Father who gives me justice and brings peoples down beneath me. Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga, era ateeka amawanga wansi wange;
49 He brings me out from my enemies. You lifted me high above my foes; you rescued me from the violent man. anziggya mu balabe bange. Wangulumiza okusinga abalabe bange, n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 Therefore I will praise you among the nations, my Father; I will sing praises to your name. Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 He gives great victories to his king and shows covenant love to his anointed, to David and his descendants forever. Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi, era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]