Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Samuel 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 There was a man from Ramathaim-zophim in the hill country of Ephraim named Elkanah son of Jeroham, son of Elihu, son of Tohu, son of Zuph, an Ephraimite. Waaliwo omusajja Omwefulayimu eyabeeranga e Lamasayimuzofimu, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’ayitibwa Erukaana, nga mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Eriku, muzzukulu wa Toku, muzzukulu wa Zufu.
2 He had two wives, Hannah and Peninnah. Peninnah had children, but Hannah had none. Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba.
3 Each year he went up from his town to worship and sacrifice to the Father of heaven's armies at Shiloh, where Eli's two sons, Hophni and Phinehas, were priests of our Father. Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow’Eggye e Siiro. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba Mukama Katonda.
4 When Elkanah sacrificed, he gave portions to his wife Peninnah and all her sons and daughters. Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama.
5 But to Hannah he gave a double portion, because he loved her, though our Father had closed her womb. Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana.
6 Because our Father had closed her womb, her rival kept provoking her bitterly to make her miserable. Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga.
7 Year after year, whenever Hannah went up to the house of our Father, Peninnah provoked her, so she wept and would not eat. Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya.
8 Her husband Elkanah asked her, "Hannah, why are you crying? Why won't you eat? Why is your heart sad? Am I not more to you than ten sons?" Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”
9 After they ate and drank at Shiloh, Hannah rose. Eli the priest sat on the seat by the doorpost of our Father's temple. Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu, Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga Mukama Katonda.
10 Deeply distressed, she prayed to our Father and wept bitterly. Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda.
11 She vowed, "Father of heaven's armies, if you will only see your servant's suffering, remember me, not forget your servant, and give her a son, I will give him to our Father all his life, and no razor will touch his head." Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”
12 As she kept on praying before our Father, Eli watched her mouth. Awo Kaana bwe yeeyongera okusaba ennyo eri Mukama Katonda, Eri ne yeekaliriza akamwa ke.
13 Hannah was praying in her heart; her lips moved but no voice was heard. So Eli thought she was drunk. Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde.
14 He said to her, "How long will you stay drunk? Put away your wine." Eri kyeyava amugamba nti, “Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.”
15 "No, my lord," Hannah answered. "I'm a woman deeply troubled in spirit. I've drunk no wine or strong drink but have poured out my soul before our Father. Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.
16 Don't take your servant for a worthless woman; I've been praying here from my deep anguish and grief." Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi ow’ekyejjo, kubanga mbadde nsindira Mukama ennaku n’obuyinike bwange.”
17 Eli answered, "Go in peace, and may the Father of Israel grant what you asked of him." Awo Eri n’amuddamu nti, “Genda mirembe. Katonda wa Isirayiri akuwe ekyo ky’omusabye.”
18 She said, "May your servant find favor in your eyes." Then the woman went her way and ate, her face no longer downcast. N’ayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu.
19 Early next morning they rose, worshiped before our Father, and returned home to Ramah. Elkanah was intimate with Hannah his wife, and our Father remembered her. Awo Erukaana n’ab’ewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza Mukama, n’oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, Mukama Katonda n’amujjukira.
20 In time Hannah conceived and bore a son. She named him Samuel, saying, "Because I asked our Father for him." Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba Mukama Katonda.”
21 When Elkanah and all his household went up to offer the yearly sacrifice to our Father and fulfill his vow, Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe.
22 Hannah didn't go. She told her husband, "When the boy is weaned, I'll bring him to appear before our Father, and he'll stay there forever." Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere, ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.”
23 "Do what seems best to you," her husband Elkanah said. "Stay until you have weaned him; only may our Father keep his word." So Hannah stayed and nursed her son until she weaned him. Erukaana n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.
24 After weaning him, she took the boy up with her, with a three-year-old bull, about twenty-five pounds of flour, and a jug of wine, and brought him to the house of our Father at Shiloh; and the child was young. Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo.
25 They slaughtered the bull and brought the boy to Eli. Bwe baamala okusala emu ku nte, ne batwala omwana eri Eri.
26 Hannah said, "Oh, my lord, as surely as you live, my lord, I am the woman who stood here beside you, praying to our Father. Kaana n’ayogera nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba Mukama Katonda.
27 I prayed for this child, and our Father has granted me what I asked of him. Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba.
28 So I give him to our Father. His whole life he is given to him." And he worshiped our Father there. Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.” Omwana n’asinzizanga Mukama Katonda eyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]