Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Samuel 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hannah prayed: "My heart exults in my Father; my horn is high in my Father. My mouth speaks boldly against my enemies, for I rejoice in your rescue. Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti, “Omutima gwange gusanyukira Mukama; amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda. Akamwa kange kasekerera abalabe bange, kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”
2 "There is none holy like our Father; there is none besides you; there is no rock like our Father. Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda tewali mulala wabula ggwe; tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
3 "Talk no more so very proudly; let no arrogance come from your mouth, for our Father is our Father of knowledge, and by him deeds are weighed. Toyogera nate nga weewaanawaana wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala, kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna, era y’apima ebikolwa.
4 The bows of the mighty are shattered, but those who stumbled are armed with strength. Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa naye abanafu baweereddwa amaanyi.
5 Those who were full hire themselves out for bread, but those who were hungry hunger no more. The barren woman has borne seven, but she who had many children is forlorn. Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala. Eyali omugumba azadde abaana musanvu, n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.
6 Our Father puts to death and brings to life; he brings down to the grave and raises up. Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu; atwala emagombe ate n’azuukiza.
7 Our Father makes poor and makes rich; he brings low and he lifts up. Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza; atoowaza ate n’agulumiza.
8 He raises the poor from the dust and lifts the needy from the ash heap, to seat them with princes and give them a throne of honor. For the pillars of the earth belong to our Father, and on them he has set the world. Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu; asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu; n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa. Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.
9 "He guards the feet of his faithful ones, but the wicked are silenced in darkness; for not by strength does anyone prevail. Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be, naye ababi balisirisibwa mu kizikiza; kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10 Those who oppose our Father will be shattered; he will thunder against them from heaven. Our Father will judge the ends of the earth; he will give strength to his king and lift high the horn of his anointed." Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa; alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu. Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango; aliwa kabaka we amaanyi, era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.
11 Then Elkanah went home to Ramah, but the boy served our Father before Eli the priest. Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza Mukama Katonda, ng’alabirirwa Eri.
12 Now the sons of Eli were worthless men; they did not know our Father. Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda.
13 This was the priests' custom with the people: when anyone sacrificed, the priest's servant came while the meat boiled, a three-pronged fork in hand. Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa,
14 He'd jab it into the pot, kettle, cauldron, or pan; whatever the fork pulled up, the priest kept for himself. So they treated all Israelites coming to Shiloh. n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro.
15 Even before burning the fat, the priest's servant would come and tell the sacrificer, "Give meat to roast for the priest—he won't take boiled meat, only raw." Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka.”
16 If the man said, "Burn the fat first, then take what you want," he'd answer, "No, give it now, or I'll take it by force." Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
17 The young men's sin was very great before our Father, for they despised our Father's offering. Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
18 But Samuel served before our Father, a boy dressed in a linen ephod. Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta.
19 Each year his mother made him a small robe and brought it when she went up with her husband for the yearly sacrifice. Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
20 Eli would bless Elkanah and his wife: "May our Father give you offspring by this woman instead of what she asked of him and gave to our Father." Then they went home. Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka.
21 Our Father cared for Hannah; she conceived and bore three sons and two daughters. The boy Samuel grew up before our Father. Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.
22 Eli was very old. He kept hearing all his sons did to all Israel, and how they slept with the women serving at the entrance to the tent of meeting. Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
23 He asked them, "Why act this way? I hear your evil deeds from all these people. N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi.
24 No, my sons; the report I hear is not good—it's spreading among the people of our Father. Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi n’akatono.
25 If one sins against another, our Father may mediate for him. But if one sins against our Father, who can intercede for the sinner? Yet they ignored their father's voice, for our Father meant to kill them." Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubazikiriza.
26 The boy Samuel kept growing in stature and in favor with our Father and with people. Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.
27 A man of our Father came to Eli: "This is what our Father says: 'Did I not clearly reveal myself to your father's house while in Egypt, under Pharaoh's house? Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo?
28 "I chose him from all the tribes of Israel as my priest—to go up to my altar, burn incense, wear an ephod before me. I gave your father's house all Israel's fire offerings. Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri.
29 Why do you kick at my sacrifice and offering I commanded for my dwelling, and honor your sons over me, growing fat on the best of every offering of my people Israel?' Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’
30 "So our Father of Israel declares: 'I said your house and your father's house would walk before me forever.' But now our Father declares: 'Never! I honor those who honor me; those who despise me I'll treat lightly.' “Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga.
31 Days are coming when I cut off your strength and your father's house's strength, so none in your house reaches old age. Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde,
32 You will see distress in my dwelling despite all the good done for Israel; never again an old man in your house. olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa.
33 Yet I will not cut off every one of yours from my altar; one will be spared to weep out your eyes and grieve your heart, but all your descendants will die in the prime of life. Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’
34 Your sign: your two sons, Hophni and Phinehas, will both die on the same day. “ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu.
35 I will raise up for myself a faithful priest who does what's in my heart and mind. I will build him a lasting house; he will walk before my anointed forever. Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta.
36 Everyone left in your house will come, bow to him for silver and a loaf of bread, saying, 'Attach me to some priestly office, so I can eat a piece of bread.'" Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]