Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Samuel 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The boy Samuel served our Father under Eli. In those days our Father's word was rare; visions were uncommon. Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
2 One day Eli lay in his usual place. His eyes had grown so weak he could not see. Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye.
3 The lamp of our Father had not yet gone out; Samuel lay in the temple of our Father, where his ark was. Ettabaaza ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali.
4 Then our Father called to Samuel, and Samuel said, "Here I am." Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
5 He ran to Eli and said, "Here I am; you called me." Eli said, "I did not call you; go back and lie down." So he went and lay down. N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”
6 Again our Father called, "Samuel!" Samuel got up, went to Eli, and said, "Here I am; you called me." "I didn't call, my son," Eli said. "Go back and lie down." Mukama n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”
7 Samuel did not yet know our Father; the word of our Father had not yet been revealed to him. Samwiri yali tannategeera nga Mukama y’amuyita, nga n’ekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.
8 So our Father called Samuel again, a third time. He got up, went to Eli, and said, "Here I am; you called me." Then Eli realized our Father was calling the boy. Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.” Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka.
9 Eli told Samuel, "Go lie down. If he calls, say, 'Speak, my Father, for your servant is listening.'" So Samuel went and lay down in his place. Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.
10 Then our Father came, stood there, and called as before: "Samuel! Samuel!" Samuel said, "Speak, for your servant is listening." Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
11 Then our Father said to Samuel, "Watch—I'm about to do something in Israel that will make both ears of everyone who hears it ring. Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala.
12 That day I will carry out against Eli all I said about his family, start to finish. Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri.
13 I told him I will judge his house forever for the sin he knew of: his sons blasphemed me, and he never stopped them. Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza.
14 So I have sworn to Eli's house: the guilt of Eli's house will never be atoned for by sacrifice or offering." Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
15 Samuel lay down until morning, then opened the doors of our Father's house. But he was afraid to tell Eli the vision. Samwiri n’addayo n’agalamira okutuusa obudde lwe bwakya, n’aggulawo enzigi ez’ennyumba ya Mukama. N’atya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna,
16 But Eli called him and said, "Samuel, my son." "Here I am," Samuel replied. naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
17 "What did he say to you?" Eli asked. "Don't hide it from me. May our Father punish you severely if you hide from me anything he told you." Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.”
18 Samuel told him everything and hid nothing from him. Eli said, "It is our Father; let him do what he thinks right." Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”
19 Samuel grew up; our Father was with him, letting none of Samuel's words fall to the ground. Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira.
20 All Israel, from Dan to Beersheba, knew Samuel was confirmed as a prophet of our Father. Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.
21 Our Father continued to appear at Shiloh, because there he revealed himself to Samuel through his word. Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]