Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Samuel 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Samuel's word reached all Israel. Israel went to fight the Philistines, camped at Ebenezer; the Philistines camped at Aphek. Awo ekigambo kya Samwiri ne kibuna Isirayiri yenna. Mu biro ebyo Abayisirayiri ne balumba Abafirisuuti, Abayisirayiri ne basiisira okumpi ne Ebenezeri, ate nga Abafirisuuti bo basiisidde mu Afeki.
2 The Philistines lined up against Israel; battle spread, Israel was defeated by the Philistines, who struck down about 4,000 men in the field. Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa.
3 When the troops returned to camp, Israel's elders asked, "Why did our Father let the Philistines defeat us today? Let's bring our Father's covenant ark from Shiloh, so he may come among us and save us from our enemies." Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.”
4 So the people sent to Shiloh and brought the ark of the covenant of the Father of heaven's armies, seated above the cherubim. Eli's two sons, Hophni and Phinehas, were there with the ark of the covenant of our Father. Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya Mukama Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano.
5 When the ark of our Father's covenant entered the camp, all Israel shouted so loudly the earth shook. Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma.
6 The Philistines heard the shout and asked, "What is this great shout in the Hebrew camp?" Then they knew our Father's ark had entered the camp. Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?” Bwe baategeera nti essanduuko ya Mukama ereeteddwa mu nkambi,
7 The Philistines were afraid, for they said, "A god has entered the camp!" Then they said, "We're doomed—this never happened before. Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.
8 We're doomed! Who will save us from the hand of these mighty gods? These are the gods who struck the Egyptians with every plague in the wilderness. Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu.
9 Be strong, Philistines! Be men, or you'll serve the Hebrews as they served you. Be men—fight! Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.”
10 Philistines fought; Israel was defeated, fleeing each to his tent. The slaughter was massive: 30,000 Israelite foot soldiers fell." Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu.
11 The ark of our Father was captured, and the two sons of Eli, Hophni and Phinehas, died. Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
12 A Benjamite ran from the battle line to Shiloh that day, clothes torn, dust on his head. Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu.
13 On arrival, Eli sat on his seat by the road watching, his heart trembling for the ark of our Father. The man entered the city, told it, and the whole city cried out. Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.
14 When Eli heard the outcry he asked, "What is this uproar?" Then the man hurried over and told Eli. Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?” Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza.
15 Eli was ninety-eight years old, and his eyes had grown so dim that he could not see. Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba.
16 The man told Eli, "I came from the battle, fled the battle line today." Eli asked, "What happened, my son?" Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.” Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?”
17 The messenger answered, "Israel fled before the Philistines; also, heavy losses among the troops; also, your two sons Hophni and Phinehas are dead; and the ark of our Father was captured." Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”
18 As he mentioned our Father's ark, Eli fell backward off his seat at the gate, broke his neck, and died—old and heavy. He had judged Israel forty years. Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.
19 His daughter-in-law, Phinehas's wife, was pregnant, near delivery. Hearing our Father's ark seized and her father-in-law and husband dead, she crouched and gave birth, for pain overwhelmed her. Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako.
20 As she lay dying, the women beside her said, "Don't be afraid, for you've borne a son." But she didn't answer or notice. Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo.
21 She named the boy Ichabod, saying, "The glory has departed from Israel"—over the capture of our Father's ark, her father-in-law, and her husband. N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde.
22 She said, "The glory has left Israel, for our Father's ark is captured." N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]