Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ruth 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Boaz went up to the town gate and sat. When the family redeemer he'd mentioned came by, Boaz said, "Come sit here, friend." So he came and sat. Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali.
2 Then he took ten of the town elders and said, "Sit here." So they sat down. Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo.
3 He told the family redeemer, "Naomi, back from Moab's country, is selling the parcel of land that belonged to our brother Elimelech. N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki.
4 So I decided to tell you: buy it before those sitting here and my people's elders. If you'll redeem it, redeem it. If not, tell me so I know, since no one but you can redeem, and I'm after you." He said, "I will redeem it." Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.” Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”
5 Boaz said, "The day you buy the field from Naomi, you also acquire Ruth the Moabite, the dead man's widow, to raise up his name on his inheritance." Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”
6 Then the redeemer said, "I can't redeem it myself, or I'd ruin my own inheritance. You take my right of redemption; I cannot redeem it." Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
7 Earlier in Israel, to make any deal for redeeming or exchanging property binding, a man would take off his sandal and give it to the other. This confirmed agreements in Israel. (Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
8 So when the family redeemer said to Boaz, "Buy it for yourself," he took off his sandal. Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye.
9 Then Boaz told the elders and all the people, "You are witnesses today that I have bought from Naomi all that belonged to Elimelech, Chilion, and Mahlon. Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa.
10 I have also taken Ruth the Moabite, Mahlon's widow, as my wife, to preserve the dead man's name with his inheritance, so his name won't vanish from his family or his hometown's records. You are witnesses today." Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
11 Then all the people at the gate and the elders said, "We are witnesses. May our Father make the woman entering your house like Rachel and Leah, who together built the house of Israel. Prosper in Ephrathah and be famous in Bethlehem. Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya, abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu,
12 May your house be like Perez's, whom Tamar bore to Judah, through the children our Father gives you by this young woman." era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi, Tamali gwe yazaalira Yuda.”
13 So Boaz took Ruth as his wife. He slept with her, and our Father let her conceive, and she gave birth to a son. Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi.
14 Then the women said to Naomi, "Praise our Father, who has not left you today without a family redeemer—may his name become famous in Israel! Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna!
15 He will renew your life and sustain your old age, for your daughter-in-law who loves you, worth more to you than seven sons, has borne him." Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
16 Then Naomi took the child, held him on her lap, and cared for him. Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira.
17 The neighbor women named him: "A son is born to Naomi!" They called him Obed, father of Jesse, father of David. Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
18 Now these are the generations of Perez: Perez fathered Hezron, Luno lwe lunyiriri lwa Pereezi: Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,
19 Hezron fathered Ram, Ram fathered Amminadab, Kezulooni yali kitaawe wa Laamu, Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.
20 Amminadab fathered Nahshon, Nahshon fathered Salmon, Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni, Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;
21 Salmon fathered Boaz, Boaz fathered Obed, Salumooni yali kitaawe wa Bowaazi, Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;
22 Obed fathered Jesse, and Jesse fathered David. Obedi yali kitaawe wa Yese, Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]