Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ruth 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then her mother-in-law Naomi said, "My daughter, shouldn't I seek a home for you, so it goes well for you? Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo?
2 Isn't Boaz, whose young women you were with, our relative? Tonight he winnows barley at the threshing floor. Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro.
3 Wash, perfume yourself, put on your cloak, and go down to the threshing floor. Don't reveal yourself to the man until he finishes eating and drinking. Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa.
4 When he lies down, note the place; go uncover his feet and lie down—he'll tell you what to do." Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.”
5 And Ruth said to her, "All that you say I will do." Awo Luusi n’amugamba nti, “Nzija kukola nga bw’ondagidde.”
6 So she went down to the threshing floor and did everything her mother-in-law had told her. N’aserengeta mu gguuliro, n’akola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira.
7 Boaz ate, drank, and felt good, then lay down at the end of the grain heap. She came secretly, uncovered his feet, and lay down. Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye.
8 At midnight the man was startled, turned over, and there lay a woman at his feet! Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa n’alaba omukazi agalamidde kumpi n’ebigere bye.
9 "Who are you?" he asked. "I am Ruth, your servant," she said. "Spread your cloak's corner over your servant, for you are a redeemer." N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika.”
10 He said, "Blessed are you by our Father, my daughter. This last kindness is better than the first, since you didn't chase young men, poor or rich. Bowaazi n’amuddamu nti, “Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu.
11 Now, my daughter, don't be afraid. I'll do all you ask, for my whole town knows you're a worthy woman. Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza.
12 Now it is true that I am a redeemer, yet there is a redeemer nearer than I. Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako.
13 Stay tonight. In the morning, if he'll redeem you—good, let him redeem. If not, as our Father lives, I will redeem you. Lie down until morning." Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”
14 She lay at his feet until morning, rose before anyone was recognizable, for he said, "No one may know a woman came to the threshing floor." N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.”
15 He said, "Bring the shawl you're wearing; hold it out." She held it out. He measured six portions of barley, put it on her, and went into the city. Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.
16 When Ruth came to her mother-in-law, Naomi asked, "How did it go, my daughter?" She told her all the man had done for her. Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde,
17 She said, "He gave me these six measures of barley, saying, 'Don't return to your mother-in-law empty-handed.'" era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
18 Naomi said, "Wait, my daughter, until you know the outcome, for the man won't rest until he settles it today." Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]