Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Peter 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So, since Christ suffered in the flesh, arm yourselves too with the same mindset: whoever suffers in the flesh is done with sin. Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi.
2 So you no longer spend your remaining time in the flesh for human cravings, but for the will of our Father. Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri.
3 You've already spent enough time doing what those who don't know the Father want: living in sensuality, lust, drunkenness, wild parties, drinking bouts, and lawless idol worship. Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala.
4 They're surprised you no longer run with them into the same flood of wild living, so they insult you for it. Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola.
5 But they will answer to the one ready to judge the living and the dead. Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola.
6 This is why the gospel was preached even to those now dead: judged in the flesh as all people are, but they may live in the spirit as our Father does. Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.
7 The end of all things is near. Therefore be clear-minded and self-controlled so that you can pray. Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.
8 Above all, keep loving one another deeply, because love covers a multitude of sins. N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.
9 Show hospitality to one another without grumbling. Musembezeganenga awatali kwemulugunya.
10 Each of you, use whatever gift you've received to serve others, as good stewards of our Father's varied grace. Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba.
11 Whoever speaks should speak as one delivering the very words of our Father. Whoever serves should serve by the strength he supplies, so that in everything he may be glorified through Jesus Christ. To him belong the glory and the power forever and ever. Amen. Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
12 Dear friends, don't be surprised at the fiery trial testing you, as if something strange were happening to you. Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo.
13 Instead, rejoice as much as you share Christ's suffering, so you may also rejoice with joy when his glory is revealed. Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise.
14 If insulted for Christ's name, you're blessed, for the Spirit of glory and of our Father rests on you. Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe.
15 None of you should suffer as a murderer, thief, criminal, or meddler in others' affairs. Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa.
16 But if you suffer as a Christian, don't be ashamed, but praise our Father that you bear that name. Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo.
17 For it is time for judgment to begin with the household of our Father; if it starts with us, what awaits those who disobey the good news of our Father? Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?
18 And, "If the righteous are barely saved, what will become of the ungodly and sinner?" “Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa, kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”
19 So then, those who suffer by our Father's will should entrust their souls to their faithful Creator, doing good. Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]