Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Peter 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Likewise, wives, submit to your own husbands, so that even if some disobey the word, they may be won without a word by their wives' conduct, Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye.
2 seeing your pure, reverent conduct. Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa.
3 Do not let your beauty be the outward kind—braided hair, gold jewelry, fine clothing. Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egy’amajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egy’ebyambalo.
4 But let it be the hidden person of the heart, the undying beauty of a gentle, quiet spirit, precious in our Father's sight. Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.
5 For this is how the holy women of old who hoped in our Father adorned themselves, submitting to their own husbands, Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri ba bbaabwe.
6 as Sarah obeyed Abraham, calling him lord. And you have become her children if you do good, fearing no terror. Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.
7 Husbands, similarly, live with your wives with understanding, honoring each as the weaker vessel and as coheirs of the grace of life, so your prayers aren't hindered. Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.
8 Finally, all of you, be of one mind, sympathetic, loving one another as family, tenderhearted, and humble. Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze.
9 Do not repay evil for evil or insult for insult, but bless instead—you were called to this, so you may inherit blessing. Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa.
10 For, "Whoever desires to love life and to see good days, let him keep his tongue from evil and his lips from speaking deceit. Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe, aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi, n’emimwa gye okwogera ebyobukuusa.
11 Let him turn away from evil and do good; let him seek peace and pursue it. Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi. Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.
12 For the eyes of our Lord are on the righteous, and his ears are open to their prayer, but the face of our Lord is against those who do evil." Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa, n’amatu ge gawuliriza bye basaba. Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”
13 Now who is there to harm you if you are eager to do what is good? Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi?
14 But if you suffer for righteousness, you are blessed. Don't fear their fear, don't be shaken. Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.”
15 Set Christ apart as Lord in your hearts. Always be ready to answer anyone who asks the reason for your hope, but with gentleness and respect. Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe,
16 Keep a clear conscience, so that when you're slandered, those who insult your good conduct in Christ are shamed. era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale.
17 Better to suffer for doing good, if that's our Father's will, than for doing evil. Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi.
18 For Christ too suffered once for sins, the righteous for the unrighteous, to bring us to our Father—put to death in flesh, made alive in spirit, Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo.
19 in which he also went and proclaimed to the spirits in prison, Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera.
20 who disobeyed long ago, when our Father waited patiently in Noah's days as the ark was being built, in which a few—eight people—were brought safely through the water. Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi.
21 This corresponding baptism now saves you too—not removing body dirt, but appealing to our Father for a good conscience—through Jesus Christ's resurrection, Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo,
22 who entered heaven and is at our Father's right hand, with angels, authorities, and powers subject to him. eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]