Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Peter 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So put away all malice and all deceit and hypocrisy and envy and all slander. Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna.
2 Like newborn babies, crave pure milk of the word, so you grow into salvation, Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,
3 now that you have tasted that the Lord is good. kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.
4 As you come to him, the living stone rejected by people but chosen, precious to our Father. Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo.
5 You too are being built, like living stones, into a spiritual house and a holy priesthood, offering spiritual sacrifices our Father accepts through Jesus Christ. Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe.
6 Scripture says: "See, I set in Zion a chosen, precious cornerstone; whoever believes in him will never be put to shame." Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni, ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde, oyo eyeesiga Kristo, taliswazibwa.”
7 This honor, then, is for you who believe. For those who don't, the stone the builders rejected has become the cornerstone, Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza, “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”
8 and a stumbling stone, a rock that trips them. They trip because they disobey the word—exactly what they were appointed for. Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.
9 But you are a chosen people, a royal priesthood, a holy nation, a people belonging to our Father, to proclaim the praises of the one who called you from darkness into his amazing light. Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.
10 Once you were not a people, now you are our Father's people; once you had not received mercy, now you have received mercy. Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
11 Dear friends, I urge you—foreigners and exiles—to avoid fleshly desires that war against your soul. Abaagalwa, mutegeerere ddala nti ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kw’omubiri, kubanga kulwanagana n’omwoyo.
12 Live good lives among the nations, so that when they slander you as wrongdoers, they may see your good deeds and glorify our Father on the day he visits us. Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.
13 Submit to every human authority for the Lord's sake—whether the emperor, as supreme, Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro ky’abo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obw’oku ntikko,
14 or to governors, sent by the emperor to punish wrongdoers and praise those who do good. oba abafuzi abalala b’atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n’okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi.
15 For this is our Father's will: that by doing good you silence the ignorant talk of foolish people. Kubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi.
16 Live as free people—not using freedom to cover evil—but as servants of our Father. Mubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ng’abaweereza ba Katonda.
17 Respect everyone, love the family of believers, fear our Father, honor the emperor. Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi.
18 Servants, submit to your masters with full respect—not only the good and gentle, but also the harsh. Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi n’abakwatampola naye n’abo abakambwe.
19 For it is commendable if someone bears up under the pain of unjust suffering, mindful of our Father. Kubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala.
20 What credit is it to endure a beating for doing wrong? But enduring suffering for doing good—this is commendable before our Father. Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi.
21 You were called to this, since Christ suffered for you too, leaving an example for you to follow in his steps. Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
22 "He committed no sin, and no deceit was found in his mouth." “Kristo teyakola kibi wadde okwogera ebyobukuusa.”
23 When they hurled their insults at him, he did not retaliate; when he suffered, he made no threats, but entrusted himself to the one who judges justly. Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza.
24 He himself bore our sins in his body on the tree, so that we might die to sin and live for righteousness; by his wounds you have been healed. Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.
25 For you were straying like sheep, but now have returned to the Shepherd and Guardian of your souls. Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]