Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The Philistines fought Israel; Israel's men fled before them and fell slain on Mount Gilboa. Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa.
2 Philistines pursued Saul and his sons, and struck down Jonathan, Abinadab, and Malchishua, sons of Saul. Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisiwa ne battibwa.
3 The fighting grew fierce around Saul; the archers caught up with him and badly wounded him. Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa.
4 Saul told his armor-bearer, "Draw your sword, run me through, or these uncircumcised men will come and abuse me." But he refused, afraid. So Saul took the sword himself and fell on it. Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako.
5 When his armor-bearer saw that Saul was dead, he too fell on his sword and died. Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta.
6 So Saul died, and his three sons, and all his household died together. Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa.
7 When the Israelites in the valley saw the army had fled and Saul and his sons were dead, they abandoned their towns and fled. The Philistines came and settled in them. Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Next day, Philistines came to strip the dead and found Saul and his sons fallen on Mount Gilboa. Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa.
9 They stripped him, took his head and armor, and sent messengers throughout Philistine land to proclaim it to their idols and the people. Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago.
10 They put his weapons in their gods' temple and nailed his head in Dagon's temple. Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate n’omutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni.
11 But when all the people of Jabesh-gilead heard everything the Philistines had done to Saul, Awo ab’e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo,
12 all their fighting men set out, took Saul's body and his sons' bodies, brought them to Jabesh, buried their bones under Jabesh's oak, and fasted seven days. abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’eggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu.
13 So Saul died for his unfaithfulness against our Father—he did not keep our Father's word, and even consulted a medium for guidance. Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako,
14 He did not seek our Father, so our Father killed him and turned the kingdom over to David son of Jesse. mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]