Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 All Israel was registered by genealogy, recorded in the Book of the Kings of Israel. And Judah was exiled to Babylon for their unfaithfulness. Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
2 The first to resettle their own property in their cities were Israel, the priests, the Levites, and the temple servants. Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.
3 And in Jerusalem lived some of the people of Judah, of Benjamin, and of Ephraim and Manasseh: Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:
4 Uthai son of Ammihud son of Omri son of Imri son of Bani, of the sons of Perez son of Judah. Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.
5 And of the Shilonites: Asaiah the firstborn, and his sons. Ku Basiiro, Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.
6 From Zerah's sons: Jeuel and their relatives, 690. Ku bazzukulu ba Zeera, Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.
7 And of Benjamin's sons: Sallu son of Meshullam, son of Hodaviah, son of Hassenuah, Ku bazzukulu ba Benyamini, Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,
8 Ibneiah son of Jeroham; Elah son of Uzzi son of Michri; Meshullam son of Shephatiah son of Reuel son of Ibnijah, ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.
9 and their relatives, listed by family line, 956. All these were heads of their ancestral families. Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.
10 And of the priests: Jedaiah, Jehoiarib, Jachin, Ku bakabona abaakomawo kwaliko Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11 and Azariah son of Hilkiah, son of Meshullam, son of Zadok, son of Meraioth, son of Ahitub, chief officer of our Father's house. ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;
12 Adaiah son of Jeroham, of Pashhur, of Malchijah; and Maasai son of Adiel, of Jahzerah, of Meshullam, of Meshillemith, of Immer; ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.
13 and their relatives—heads of their families—1,760, capable men for serving in the house of our Father. Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
14 Of the Levites: Shemaiah son of Hasshub, son of Azrikam, son of Hashabiah, of the sons of Merari, Ku baleevi kwaliko: Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,
15 and Bakbakkar, Heresh, Galal, and Mattaniah son of Mica, son of Zichri, son of Asaph; ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,
16 and Obadiah son of Shemaiah, son of Galal, son of Jeduthun, and Berechiah son of Asa, son of Elkanah, who lived in the villages of the Netophathites. ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni; ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.
17 The gatekeepers: Shallum, Akkub, Talmon, Ahiman, and their relatives; Shallum was chief. Abaggazi ba wankaaki baali, Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu;
18 To this day they stand at the King's Gate, on the east side. These were the gatekeepers of the Levite camps. be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.
19 Shallum son of Kore, of Ebiasaph, of Korah, and his relatives of his father's house, the Korahites, oversaw the work of service, guarding the tent's thresholds; their fathers oversaw the camp of our Father, guarding the entrance. Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.
20 Phinehas son of Eleazar was leader over them formerly; our Father was with him. Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.
21 Zechariah the son of Meshelemiah was gatekeeper at the entrance of the tent of meeting. Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
22 All of them, chosen as gatekeepers of the gates, numbered 212, registered by genealogy in their villages. David and Samuel the seer had appointed them to this trusted office. Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali.
23 They and their sons guarded the gates of the house of our Father, the house of the tent, as guards. Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema.
24 The gatekeepers were posted on the four sides: east, west, north, and south. Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo,
25 Their relatives in their villages were to come every seven days, from time to time, to be with them. era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu.
26 The four chief gatekeepers, Levites, were entrusted with the chambers and treasuries of the house of our Father. Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda.
27 They stayed the night around our Father's house, since the guard duty was theirs, and the opening, morning by morning. Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.
28 Some were in charge of the service vessels, counting them in and out. Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo.
29 Others were in charge of the furnishings, sacred utensils, fine flour, wine, oil, incense, and spices. Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa.
30 And some of the priests' sons blended the spices. Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa.
31 Mattithiah, one of the Levites, firstborn of Shallum the Korahite, was in charge of baking the flat cakes. Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo,
32 Some Kohathite relatives were responsible for preparing the rows of bread every Sabbath. era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.
33 These singers, heads of Levite families, stayed in the temple chambers, exempt from other duties—on duty day and night. Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.
34 These were heads of Levite families, leaders listed by family line; and they lived in Jerusalem. Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
35 In Gibeon lived Jeiel the father of Gibeon, and the name of his wife was Maacah, Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni, n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka,
36 and his firstborn son was Abdon, then Zur, Kish, Baal, Ner, Nadab, ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako,
37 Gedor, Ahio, Zechariah, and Mikloth. ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo.
38 Mikloth fathered Shimeam; they too lived with their relatives in Jerusalem, opposite their relatives. Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
39 And Ner fathered Kish, Kish fathered Saul, and Saul fathered Jonathan, Malchi-shua, Abinadab, and Esh-baal. Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
40 And the son of Jonathan was Merib-baal, and Merib-baal fathered Micah. Mutabani wa Yonasaani ye yali Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.
41 The sons of Micah: Pithon, Melech, Tahrea, and Ahaz. Batabani ba Mikka baali Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
42 And Ahaz fathered Jarah, and Jarah fathered Alemeth, Azmaveth, and Zimri; and Zimri fathered Moza. Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza.
43 And Moza fathered Binea, and Rephaiah was his son, Eleasah his son, and Azel his son. Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.
44 Azel had six sons, named Azrikam, Bocheru, Ishmael, Sheariah, Obadiah, and Hanan—these were Azel's sons. Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe: Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]