Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then all Israel gathered to David at Hebron, saying, "Look, we are your bone and flesh. Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo.
2 Even before, while Saul was king, you led Israel out and back. Your Father told you, 'You will shepherd my people Israel; you will be ruler over my people Israel.'" Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
3 All Israel's elders came to the king at Hebron, and David made a covenant with them at Hebron before our Father. Then they anointed David king over Israel, as our Father had said through Samuel. Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.
4 David and all Israel went to Jerusalem (that is, Jebus), where the Jebusites, its residents, lived. Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu.
5 Jebus's people told David, "You won't enter here." But David took the stronghold of Zion—the city of David. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
6 David said, "Whoever strikes the Jebusites first becomes head and commander." Joab son of Zeruiah went up first and became head. Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo.
7 David then settled in the stronghold; that is why it was called the city of David. Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi.
8 He built the city all around, from the Millo to the encircling wall, while Joab restored the rest of the city. N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga.
9 And David became more and more powerful, for the Father of heaven's armies was with him. Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.
10 These are the chiefs of David's mighty men, who gave him strong support in his kingdom, with all Israel, to make him king, by our Father's word concerning Israel. Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;
11 This is the list of David's mighty men: Jashobeam, a Hachmonite, head of the Three, used his spear to kill 300 men in a single encounter. Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.
12 After him, Eleazar son of Dodo the Ahohite, one of the three mighty warriors. Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu.
13 He was with David at Pas-dammim when Philistines gathered there for battle, in a field full of barley; the people fled from the Philistines, Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti.
14 but they stood their ground in the middle of the field, defended it, and struck down the Philistines; our Father saved them with a great victory. Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.
15 Three of the thirty top warriors went down to David at the rock by Adullam's cave, while a Philistine unit camped in the Rephaim Valley. Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
16 At that time David was in the stronghold, and a Philistine garrison was at Bethlehem. Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu.
17 David craved water: "If only someone would get me a drink from Bethlehem's well by the gate!" Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.”
18 The three broke through the Philistine camp, drew water from Bethlehem's well by the gate, and brought it to David. But he wouldn't drink it—he poured it out to our Father. Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama.
19 He said, "May my Father forbid it! Should I drink the blood of men who put their lives at risk? They brought it by risking their lives." So he refused to drink it. These were the deeds of the three warriors. N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa. Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.
20 Abishai the brother of Joab was chief of the Thirty. He used his spear to kill 300 men, and he made a name for himself among the Three. Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu.
21 Most honored of the Thirty, he became their commander—yet not one of the Three. Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.
22 Benaiah son of Jehoiada, a valiant man from Kabzeel, did great deeds: he struck down two of Moab's mightiest, and went down into a pit on a snowy day and killed a lion. Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma.
23 He also killed an Egyptian, a man of great size, about seven and a half feet tall, who had a spear like a weaver's beam. Benaiah went at him with a club, tore the spear from the Egyptian's hand, and killed him with his own spear. Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa.
24 These were Benaiah son of Jehoiada's deeds; he gained a name among the three mighty men. Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi.
25 He was honored above the Thirty, but not among the Three. David put him in charge of his own guard. Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.
26 The mighty warriors were: Asahel the brother of Joab, Elhanan son of Dodo of Bethlehem, Abasajja abazira ab’eggye baali: Asakeri muganda wa Yowaabu, ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
27 Shammoth the Harorite, Helez the Pelonite, ne Sammosi Omukalooli, ne Kerezi Omuperoni;
28 Ira son of Ikkesh of Tekoa, Abiezer of Anathoth, ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, ne Abiyezeeri Omwanasosi,
29 Sibbecai the Hushathite, Ilai the Ahohite, ne Sibbekayi Omukusasi, ne Irayi Omwakowa,
30 Maharai of Netophah, Heled son of Baanah of Netophah, ne Makalayi Omunetofa, ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,
31 Ithai son of Ribai of Gibeah of the Benjaminites, Benaiah of Pirathon, ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini, ne Benaya Omupirasoni,
32 Hurai of the brooks of Gaash, Abiel the Arbathite, ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi, ne Abiyeeri Omwalubasi,
33 Azmaveth of Baharum, Eliahba the Shaalbonite, ne Azumavesi Omubakalumi, ne Eriyaba Omusaaluboni,
34 the sons of Hashem the Gizonite, Jonathan son of Shagee the Hararite, batabani ba Kasamu Omugizoni, ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;
35 Ahiam son of Sachar the Hararite, Eliphal son of Ur, ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ne Erifali mutabani wa Uli,
36 Hepher the Mecherathite, Ahijah the Pelonite, ne Keferi Omumekera, ne Akiya Omuperoni,
37 Hezro of Carmel, Naarai son of Ezbai, ne Kezulo Omukalumeeri, ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,
38 Joel the brother of Nathan, Mibhar son of Hagri, ne Yoweeri muganda wa Nasani, ne Mibukali mutabani wa Kaguli;
39 Zelek the Ammonite, Naharai of Beeroth, the armor-bearer of Joab son of Zeruiah, ne Zereki Omwamoni, ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
40 Ira the Ithrite, Gareb the Ithrite, ne Ira Omuyisuli, ne Galebu Omuyisuli,
41 Uriah the Hittite, Zabad son of Ahlai, ne Uliya Omukiiti, ne Zabadi mutabani wa Akulayi,
42 Adina son of Shiza the Reubenite, a leader of the Reubenites, and thirty with him, ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,
43 Hanan son of Maacah, Joshaphat the Mithnite, ne Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafaati Omumisuni,
44 Uzzia the Ashterathite, Shama and Jeiel the sons of Hotham the Aroerite, ne Uzziya Omwasutaloosi, ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,
45 Jediael son of Shimri, and Joha his brother, the Tizite, ne Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,
46 Eliel the Mahavite, Jeribai and Joshaviah the sons of Elnaam, Ithmah the Moabite, ne Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,
47 Eliel, Obed, and Jaasiel the Mezobaite. ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]