Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zephaniah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The word of our Father came to Zephaniah son of Cushi, son of Gedaliah, son of Amariah, son of Hezekiah, when Josiah son of Amon ruled Judah. Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
2 "I will utterly sweep away everything from the face of the earth,' declares our Father. “Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
3 "I will sweep away man and beast; I will sweep away the birds of the sky and the fish of the sea, and the rubble of idols along with the wicked. I will cut off humanity from the face of the earth,' declares our Father. “Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo; ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo; bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
4 'I will stretch out my hand against Judah and against all who live in Jerusalem. I will cut off from this place every remnant of Baal, the name of the idolatrous priests along with the priests, Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
5 those who bow down on the rooftops to the starry host, those who bow down and swear by our Father and yet swear by Milcom, abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
6 and those who turn back from following our Father, who do not seek our Father or inquire of him." abo abadda emabega obutagoberera Mukama, wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.
7 Be silent before the Sovereign Father! For the day of our Father is near; he has prepared a sacrifice and consecrated his guests. Siriikirira awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi. Mukama ategese ssaddaaka, era atukuzizza abagenyi be.
8 "On the day of our Father's sacrifice I will punish the officials and the king's sons and all who array themselves in foreign attire. Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, ndibonereza abakungu n’abaana ba Kabaka, n’abo bonna abambadde ebyambalo ebitasaana.
9 On that day I will punish all who leap over the threshold, who fill their master's house with violence and deceit. Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko, n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
10 On that day,' declares our Father, 'a cry will go up from the Fish Gate, a wail from the Second Quarter, and a loud crash from the hills. Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja, okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri, n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
11 Wail, you who live in the Mortar! For all the merchants are silenced; all who weigh out silver are cut off.'" Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale; abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
12 At that time I will search Jerusalem with lamps and punish the men who are settled like wine on its dregs, who say in their hearts, "God will do nothing—neither good nor harm. Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya, mbonereze abo bonna abalagajjavu abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa, abalowooza nti Mukama talibaako ne ky’akolawo.
13 Their wealth will be plundered and their houses laid waste. They will build houses but not live in them; they will plant vineyards but not drink their wine." Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.
14 The great day of our Father is near—near and coming fast. Listen! The day of our Father is bitter; there the mighty warrior cries out. Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi, n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 That day is a day of wrath, a day of distress and anguish, a day of ruin and devastation, a day of darkness and gloom, a day of clouds and thick darkness, Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira, olunaku olw’ekikome n’ekizikiza, olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 a day of trumpet blast and battle cry against the fortified cities and against the lofty corner towers. olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko ebigo n’eri eminaala emigulumivu.
17 "I will bring such distress on people that they will grope about like the blind, because they have sinned against our Father. Their blood will be poured out like dust and their flesh like manure. Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ng’abazibe b’amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu, n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
18 Neither their silver nor their gold will be able to save them on the day of our Father's wrath. In the fire of his jealousy the whole earth will be consumed, for he will bring a sudden end to everyone on earth." Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gw’obuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]