Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then I looked up and saw a man with a measuring line in his hand. Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ng’alina mu mukono gwe olukoba olupima.
2 I asked, "Where are you going?" He said to me, "To measure Jerusalem, to see how wide and how long it is." Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?” Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”
3 The angel speaking with me left, and another angel came out to meet him, Awo malayika eyali ayogera nange n’agenda, malayika omulala n’amusisinkana.
4 and said to him, "Run, tell this young man: 'Jerusalem will settle like open country, with so many people and livestock in her.' N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu.
5 I myself will be a wall of fire around her, declares our Father, and I will be the glory within her.'" Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama.
6 "Come! Come! Flee from the land of the north, declares our Father, for I scattered you like the four winds of heaven, declares our Father. “Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.
7 Come, Zion! Escape, you who live with the daughter of Babylon. “Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.”
8 This is what the Father of heaven's armies says—after his glory sent me against the nations who plundered you: whoever touches you touches the apple of his eye: Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye.
9 For look, I will wave my hand over them, and they will become plunder for those who served them. Then you will know the Father of heaven's armies sent me. Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.
10 Sing and rejoice, daughter of Zion! For look, I am coming to live among you, declares our Father. “Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama.
11 "Many nations will join our Father that day and become my children. I will live among you, and you will know the Father of heaven's armies sent me to you. “Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli.
12 And our Father will claim Judah as his portion in the holy land, and again choose Jerusalem. Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi.
13 Be silent, all flesh, before our Father, for he stirs himself from his holy dwelling." Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]