Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In Darius's second year, eighth month, our Father's word came to Zechariah son of Berechiah, son of Iddo the prophet: Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:
2 Our Father was very angry with your ancestors. “Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe.
3 So tell them: This is what the Father of heaven's armies says: Return to me, declares the Father of heaven's armies, and I will return to you. So says the Father of heaven's armies. Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
4 Do not be like your ancestors. To them the earlier prophets proclaimed: This is what the Father of heaven's armies says: Turn now from your evil ways and evil deeds. But they would not listen or heed me, declares our Father. Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama.
5 Your ancestors—where are they now? And the prophets, do they live forever? Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna?
6 But my words and decrees, which I commanded my servants the prophets—did they not overtake your ancestors? Then they turned back and said, 'Just as the Father of heaven's armies planned to do to us, matching our ways and deeds, so he has dealt with us.' Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira? “Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
7 On the twenty-fourth day of the eleventh month, Shebat, in Darius's second year, the word of our Father came to Zechariah son of Berechiah, son of Iddo the prophet: Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.
8 During the night I had a vision—and there before me was a man riding a red horse, standing among the myrtle trees in a ravine, and behind him were red, brown, and white horses. Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.
9 I asked, 'What are these, my lord?' The angel talking with me said, 'I will show you what they are.' Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”
10 The man among the myrtle trees answered, 'These are the ones our Father sent to patrol the earth.' Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.”
11 They reported to the messenger of our Father standing among the myrtle trees, 'We have patrolled the earth; the whole earth sits at rest and peace.' Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”
12 Then the messenger of our Father said, 'Father of heaven's armies, how long will you hold back mercy from Jerusalem and Judah's cities, angry with them these seventy years?' Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?”
13 So our Father spoke kind and comforting words to the angel who was talking with me. Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.
14 Then the angel talking with me said, 'Proclaim: This is what the Father of heaven's armies says: I am very jealous for Jerusalem and Zion,' Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi,
15 but I am very angry with the secure nations; I was only a little angry, but they added to the harm. naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’
16 So our Father says: I will return to Jerusalem with mercy; there my house will be rebuilt, declares the Father of heaven's armies, and the measuring line will be stretched over Jerusalem. “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
17 Proclaim further: So says the Father of heaven's armies: My cities will again overflow with prosperity; our Father will again comfort Zion and again choose Jerusalem. “Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
18 Then I looked up, and there before me were four horns. Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana.
19 I asked the angel talking with me, 'What are these?' He said, 'These are the horns that scattered Judah, Israel, and Jerusalem.' Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?” N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”
20 Then our Father showed me four craftsmen. Awo Mukama n’andaga abaweesi bana.
21 I asked, 'What are these coming to do?' He said, 'These horns scattered Judah so no one could lift his head; but these craftsmen came to terrify them and throw down the horns the nations raised against Judah's land to scatter it.' Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?” N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]