Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So you have no excuse, whoever you are, when you judge another—in judging them you condemn yourself, since you do the same things. Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango.
2 Now we know that our Father's judgment rightly falls on those who do such things. Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ng’ebyo.
3 Do you think, whoever judges others for such things while doing them yourself, that you'll escape our Father's judgment? Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka?
4 Or do you despise the riches of his kindness and restraint and patience, not realizing that our Father's kindness is meant to lead you to repentance? Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
5 But because of your hard, unrepentant heart, you are storing up wrath for yourself, for the day of wrath when our Father's righteous judgment will be revealed. Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lw’ekiruyi n’okubikkulirwa, Katonda lw’alisalirako omusango ogw’obutuukirivu.
6 He will repay each person according to what they have done. Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye.
7 To those who through persistent good work seek glory, honor, and immortality, he will give eternal life. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe.
8 But those who are self-seeking, reject the truth, and follow wickedness face wrath and rage. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu.
9 Trouble and distress for everyone who does evil—the Jew first, then the Greek, Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga.
10 but glory, honor, and peace for all who do good—Jew first, then Greek too. Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga.
11 For our Father shows no favoritism. Kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12 Sinners without the law also perish without it; sinners under the law will be judged by it. Abo bonna abaayonoona olw’obutamanya mateeka, balizikirira; era n’abo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka.
13 For not those who hear the law are righteous before our Father, but those who obey it will be justified. Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu.
14 Indeed, when Gentiles, who do not have the law, do by nature what the law requires, the law is at work within them, even though they do not have the law. Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu eby’Amateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ng’Amateeka tegaabaweebwa.
15 They show the law's work written on their hearts, their conscience bearing witness, and their conflicting thoughts accusing or defending them. Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi.
16 This happens on the day our Father judges everyone's secrets through Jesus Christ—so my gospel says. Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kw’aliramulira abantu olw’ebyo bye baakisa, ng’enjiri yange bw’eri ku bwa Yesu Kristo.
17 But if you call yourself a Jew, rely on the law, and boast in our Father, Abamu ku mmwe mweyita Bayudaaya. Mwesiga amateeka ne mwewaana nga bwe mumanyi Katonda.
18 if you know our Father's will and approve what is excellent because you are instructed by the law, Bwe musoma ebyawandiikibwa muyiga engeri Katonda gy’ayagala mweyise ne muzuula ekituufu.
19 if you're convinced you are a guide for the blind, a light for those in darkness, Mukakasa nga bwe muli abakulembeze b’abazibe b’amaaso, era ettabaaza eri abo bonna abali mu kizikiza.
20 a corrector of the foolish, teacher of the immature, holding in the law the shape of knowledge and truth. Naye olwokubanga, amateeka ga Katonda gatuwa amagezi n’amazima, mulowooza muyinza okuyigiriza abatali bagezi n’abaana abato.
21 You teach others—do you not teach yourself? You preach against stealing—do you steal? Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki toyinza kweyigiriza wekka? Ategeeza abalala obutabba, tobba?
22 You who tell others not to commit adultery—do you commit it? You who detest idols—do you rob temples? Ategeeza obutayenda, toyenda? Akyawa ebifaananyi, si ggwe onyaga eby’omu masabo?
23 You who boast in the law, do you dishonor our Father by breaking the law? Mwenyumiririza mu mateeka, naye ne muswaza Katonda olw’obutagatuukiriza.
24 As it is written: "Our Father's name is blasphemed among the nations because of you." Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Olw’ebikolwa byammwe ebyo, erinnya lya Katonda kyelivudde livvoolebwa mu mawanga.”
25 Circumcision helps if you keep the law; break it, and your circumcision becomes being uncircumcised. Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole.
26 So if the uncircumcised keep the law's requirements, won't their uncircumcision be counted as circumcision? Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ng’eyakomolebwa?
27 The physically uncircumcised who keep the law will judge you who, with the letter and circumcision, break the law. Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.
28 For being a Jew isn't merely about the outside, nor circumcision merely about the body. Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini.
29 Rather, one is a Jew inwardly, circumcision being of the heart, by the Spirit, not the written code; that one's praise is not from people but from our Father. Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]