Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 What advantage, then, does the Jew have? Or what is the value of circumcision? Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki?
2 Much in every way. First of all, they were entrusted with the very words of our Father. Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.
3 What then? If some were unfaithful, will their unfaithfulness nullify the faithfulness of our Father? Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza?
4 No! Let our Father be true, though every person is a liar. As it is written: "You are proven right in your words, and win when judged." Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Olyoke otuukirire mu bigambo byo, era osinge bw’osala omusango.”
5 But if our wrongdoing highlights our Father's righteousness, what do we say? Is our Father unjust to bring wrath on us? (I speak in human terms.). Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu.
6 Certainly not! For then how could our Father judge the world? Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango?
7 But if my lie makes our Father's truth overflow to his glory, why am I still judged as a sinner? Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi?
8 Why not say, as some slander us as saying, "Let's do evil so good may come"? Their judgment is deserved. Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.
9 What then? Are we better off? Not at all—we've already charged that Jews and Greeks alike are all under sin's grip, Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga.
10 as it is written: "There is no one righteous, not even one; Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti: “Tewali mutuukirivu n’omu.
11 no one understands; no one seeks our Father. Tewali ategeera wadde anoonya Katonda.
12 All have turned away; together they have become worthless; no one does good, not even one. Bonna baakyama, bonna awamu baafuuka kitagasa; tewali n’omu akola obulungi, tewali n’omu.”
13 Their throat is an open grave; they use their tongues to deceive." "The venom of snakes is under their lips. “Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde, n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.” “Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14 Their mouth is full of cursing and bitterness. “Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 Their feet are swift to shed blood; “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16 ruin and misery mark their ways, buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 and the way of peace they have not known. Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18 There is no fear of our Father before their eyes." “N’okutya tebatya Katonda.”
19 We know whatever the law says applies to those under it, so every mouth is silenced and the whole world stands accountable to our Father. Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya.
20 No one is made right before him by works of the law; the law brings awareness of sin. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.
21 But now, apart from the law, our Father's righteousness has been revealed, testified to by the Law and the Prophets. Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi.
22 This righteousness of our Father comes through faith in Jesus Christ, to all who believe, for there's no distinction, Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola.
23 since all have sinned and fall short of the glory of our Father, Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda.
24 and are justified freely by his grace through the redemption that is in Christ Jesus. Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo;
25 Our Father presented him as the atoning sacrifice, through faith in his blood, to show his righteousness, since in his patience he had passed over sins committed before, Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda.
26 to show his righteousness now, so he is both just and the justifier of whoever trusts in Jesus. Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.
27 Where then is boasting? Excluded. By what law? Of works? No—by the law of faith. Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza.
28 For we maintain that a person is justified by faith apart from works of the law. Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka.
29 Or is our Father the Father of Jews only? Not the Father of Gentiles too? Yes, of Gentiles too, Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe.
30 since our Father is one, he will justify the circumcised by faith and the uncircumcised through faith. Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe.
31 Do we cancel the law through this faith? Never—we confirm the law. Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]