Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Lamentations 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 How the gold has grown dim, how the purest gold is changed! The sacred stones lie scattered at every street corner. Zaabu ng’ettalazze! Zaabu ennungi ng’efuuse! Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye buli luguudo we lutandikira.
2 The precious children of Zion, once worth their weight in fine gold, how they are now counted as clay pots, the work of a potter's hands! Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo abaali beenkana nga zaabu ennungi, kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba, omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
3 Even jackals offer the breast and nurse their young, but the daughter of my people has turned cruel, like ostriches in the wilderness. Ebibe biyonsa abaana baabyo, naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa, bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
4 The tongue of the nursing infant sticks to the roof of its mouth from thirst; the children beg for bread, but no one gives them a piece. Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina, olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke; abaana basaba emmere naye tewali n’omu agibawa.
5 Those who once feasted on delicacies now lie desolate in the streets; those who grew up wearing fine purple now cling to ash heaps. Abaalyanga ebiwoomerera basabiriza ku nguudo; n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka bali ku ntuumu ez’ebisasiro.
6 The guilt of the daughter of my people is greater than the sin of Sodom, which was overthrown in a moment, though no human hand was laid against her. Ekibonerezo ky’abantu bange kisinga ekya Sodomu, ekyawambibwa mu kaseera akatono, nga tewali n’omu azze kukibeera.
7 Her princes were purer than snow, whiter than milk; their bodies more rosy than coral, their form like sapphire. Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira, nga beeru okusinga amata; n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu, era banyirivu nga safiro.
8 Now their appearance is blacker than soot; they go unrecognized in the streets. Their skin has shriveled on their bones; it has dried up like wood. Naye kaakano badduggala okusinga enziro, era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo. Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe; lukaze ng’ekiti ekikalu.
9 Those slain by the sword were better off than those slain by hunger, who wasted away, pierced through with hunger for lack of food from the fields. Abafa ekitala bafa bulungi okusinga abafa enjala, kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo olw’obutaba na mmere mu nnimiro.
10 The hands of compassionate women boiled their own children; they became their food when the daughter of my people was destroyed. Abakazi ab’ekisa abaagala abaana bafumbye abaana baabwe; abaana abaafuuka emmere abantu bange bwe baazikirizibwa.
11 Our Father gave full vent to his wrath; he poured out his burning anger and kindled a fire in Zion that consumed her foundations. Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi, era abayiyeeko obusungu bwe obungi. Yakoleeza omuliro mu Sayuuni ogwayokya emisingi gyakyo.
12 The kings of the earth did not believe, nor did anyone living on earth, that an enemy or a foe could enter the gates of Jerusalem. Bakabaka b’ensi n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza, nti abalabe n’ababakyawa baliyingira mu wankaaki wa Yerusaalemi.
13 It was for the sins of her prophets and the crimes of her priests, who shed in her midst the blood of the righteous. Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be, n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be, abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaababeerangamu.
14 They wandered blind through the streets, defiled with blood, so that no one could touch their garments. Badoobera mu nguudo nga bamuzibe; bajjudde omusaayi so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.
15 "Away! Unclean!" people cried at them. "Away! Away! Do not touch!" So they fled and wandered, and among the nations it was said, "They can stay here no longer." Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu! Muviireewo ddala, so temutukwatako!” Bwe baafuuka emmombooze, amawanga gabagobaganya nga boogera nti, “Tebakyasaana kubeera wano.”
16 Our Father's presence has scattered them; he will look on them no longer. No honor was shown to the priests, no favor to the elders. Mukama yennyini abasaasaanyizza, takyabafaako. Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.
17 Our eyes grew weary watching in vain for help; from our watchtowers we watched for a nation that could not save. Amaaso gaffe gakooye olw’okulindirira okubeerwa okutajja; nga tulindirira eggwanga eriyinza okutulokola.
18 They stalked our steps so we could not walk in our streets. Our end drew near, our days were numbered, for our end had come. Baatucocca ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe; enkomerero yaffe n’eba kumpi, n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.
19 Our pursuers were swifter than eagles in the sky; they chased us over the mountains and lay in wait for us in the wilderness. Abaatuyiganyanga baatusinga embiro okusinga n’empungu ez’omu bbanga. Baatugobera mu nsozi ne batuteegera mu ddungu.
20 Our very life-breath, our Father's anointed, was captured in their pits—the one of whom we said, "Under his shadow we will live among the nations." Oyo Mukama gwe yafukako amafuta yagwa mu mitego gyabwe. Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye ne tubeeranga mu mawanga.
21 Rejoice and be glad, daughter of Edom, you who live in the land of Uz; but the cup of his anger will come to you as well—you will become drunk and strip yourself bare. Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; naye lumu olinywa ku kikompe n’otamiira ne weeyambula.
22 Your punishment is complete, daughter of Zion; he will not prolong your exile. But your guilt, daughter of Edom, he will punish; he will lay bare your sins. Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo, talikwongerayo mu busibe. Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza, n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]