Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Lamentations 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I am the man who has seen affliction under the rod of his wrath. Nze muntu eyakangavvulwa n’omuggo ogw’obusungu bwe.
2 He has driven me away and made me walk in darkness without any light. Angobye mu maaso ge n’antambuliza mu kizikiza, awatali kitangaala;
3 Surely against me he turns his hand again and again, all day long. ddala, omukono gwe gunnwanyisizza emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
4 He has worn away my flesh and my skin; he has broken my bones. Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange era amenye n’amagumba gange.
5 He has besieged me and surrounded me with bitterness and hardship. Antaayizza n’anzijuza obulumi n’okubonaabona.
6 He has made me dwell in darkness like those long dead. Antadde mu kizikiza ng’abafu abaafa edda.
7 He has walled me in so I cannot escape; he has weighed down my chains. Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka, ansibye enjegere ezizitowa.
8 Even when I call out and cry for help, he shuts out my prayer. Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe, okusaba kwange akuggalira bweru.
9 He has blocked my ways with cut stones; he has made my paths crooked. Anteeredde amayinja mu kkubo lyange era akyamizza amakubo gange.
10 He is a bear lying in wait for me, a lion in hiding. Ng’eddubu bwe liteega, n’empologoma bwe yeekweka
11 He drove me off my path and tore me to pieces; he has made me desolate. yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula n’andeka awo nga sirina anyamba.
12 He bent his bow and set me as the target for his arrow. Yanaanuula omutego gwe, n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.
13 He drove the arrows of his quiver into my vitals. Yafumita omutima gwange n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
14 I have become the laughingstock of all my people, their mocking song all day long. Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna, era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
15 He has filled me with bitterness; he has sated me with bitterness. Anzijuzza ebikaawa era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.
16 He has made my teeth grind on gravel, and made me cower in the dust. Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka; anninnyiridde mu nfuufu.
17 My soul has lost all peace; I have forgotten what happiness is. Emmeeme yange terina mirembe, n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 So I say, "My endurance has perished, and so has my hope from our Father." Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”
19 Remember my affliction and my wandering, the bitterness and the gall! Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange, n’obulumi n’obubalagaze.
20 My soul continually remembers it and is bowed down within me. Mbijjukira bulungi era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 But this I call to mind, and therefore I have hope: Ebyo byonna mbijjukira, kyenvudde mbeera n’essuubi.
22 The covenant love of our Father never ceases; his mercies never come to an end; Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 they are new every morning; great is your faithfulness. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 "Our Father is all I need," says my soul, "therefore I will hope in him." Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
25 Our Father is good to those who wait for him, to the soul who seeks him. Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya.
26 It is good to wait quietly for the salvation of our Father. Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 It is good for a man to bear the yoke in his youth. Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye mu buvubuka bwe.
28 Let him sit alone in silence when it is laid on him; Atuulenga yekka mu kasirise kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 let him put his mouth in the dust—there may yet be hope; Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 let him give his cheek to the one who strikes, and be filled with insults. Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa, era amalibwe n’okuvumibwa.
31 For the Sovereign Father will not abandon forever. Kubanga Mukama taligobera bantu bweru ebbanga lyonna.
32 Though he causes grief, he will have compassion according to the abundance of his covenant love; Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
33 for he does not willingly afflict or grieve people. Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.
34 To crush underfoot all the prisoners of the earth, Mukama akkiriziganya n’okulinnyirira abasibe,
35 to deny a man justice in the sight of the Most High, n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
36 to deprive a man of justice in his case—the Sovereign Father does not approve. oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
37 Who has spoken and it came to pass, unless the Sovereign Father has commanded it? Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira, Mukama nga takiragidde?
38 Is it not from the mouth of the Most High that both calamity and good come? Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo, si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 Why should a living man complain about the punishment for his sins? Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
40 Let us examine and test our ways, and return to our Father! Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, tudde eri Mukama.
41 Let us lift up our hearts and our hands to our Father in heaven: Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 "We have sinned and rebelled, and you have not forgiven. “Twayonoona ne tujeema, tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
43 You have wrapped yourself in anger and pursued us, killing without pity; “Ojjudde obusungu n’otugobaganya, n’otutta awatali kutusaasira.
44 you have wrapped yourself with a cloud so that no prayer can pass through. Weebisseeko ekire, waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 You have made us scum and refuse among the peoples. Otufudde obusa n’ebisasiro mu mawanga.
46 All our enemies open their mouths against us; “Abalabe baffe bonna batwogerako ebigambo ebibi.
47 panic and pitfall have come upon us, devastation and destruction." Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 My eyes flow with streams of water over the destruction of my people. Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga olw’okuzikirira kw’abantu bange.
49 My eyes will flow without ceasing, without respite, Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga awatali kusirika,
50 until our Father looks down and sees from heaven. okutuusa Mukama lw’alisinzira mu ggulu n’alaba.
51 My eyes bring grief to my soul at the fate of all the daughters of my city. Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange, olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
52 I have been hunted like a bird by those who were my enemies without cause; Abalabe bange banjigganya olutata ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 they flung me alive into a pit and cast stones on me; Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya, ne bankasuukirira amayinja;
54 water closed over my head; I said, "I am lost." amazzi gaabikka omutwe gwange, ne ndowooza nti, nsanyeewo.
55 I called on your name, my Father, from the depths of the pit; “Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama, nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 you heard my plea: "Do not turn a deaf ear to my cry for help!" wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go eri okukaaba kwange.”
57 You came near on the day I called on you; you said, "Do not fear!" Bwe nakukoowoola wansemberera n’oyogera nti, “Totya!”
58 You have taken up my cause, Sovereign Father; you have redeemed my life. Mukama watunula mu nsonga yange, era n’onunula obulamu bwange.
59 You have seen the wrong done to me, my Father; judge my cause. Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola, obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 You have seen all their vengeance, all their plots against me. Walaba bwe bampalana, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
61 You have heard their taunts, my Father, all their plots against me, Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 the lips and thoughts of my assailants against me all day long. obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange bye bantesaako obudde okuziba.
63 Watch their every move; I am the object of their mocking song. Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe; bannyooma nga bwe bannyimbirira.
64 You will repay them, my Father, according to the work of their hands. Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda, olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
65 You will give them hardness of heart; your curse will be on them. Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe, n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66 You will pursue them in anger and destroy them from under the heavens of our Father. Obayigganye mu busungu bwo obazikirize ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]