Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Joshua 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Joshua son of Nun quietly sent two men from Shittim as spies: "Go, scout the land, especially Jericho." They went, entered the house of a prostitute named Rahab, and stayed there. Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko.” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo.
2 The king of Jericho was told, "Men came here tonight from the Israelites to scout the land." Naye kabaka wa Yeriko n’akitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye.
3 Jericho's king sent to Rahab: "Bring out the men who came to you and entered your house, for they came to scout the whole land." Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”
4 But the woman had taken the two men and hidden them, and said, "Yes, the men came to me, but I didn't know where they were from. Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava.
5 At dark, as the gate was closing, the men left. I don't know where the men went. Chase them quickly, since you'll catch them." Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.”
6 But she had brought them up to the roof and hidden them in her flax stalks laid there. So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa.
7 The men chased them on the Jordan road to the fords, and once the pursuers left, the gate was shut. Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.
8 Before the spies lay down for the night, Rahab came up to them on the roof, Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu n’ayambuka gye baali ku nju waggulu
9 and said to them, "I know the LORD has given you the land, that dread of you fell on us, and all living in the land melt away before you. n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo.
10 We heard how the LORD dried up the Red Sea before you when you left Egypt, and what you did to Sihon and Og, the two Amorite kings east of the Jordan, whom you devoted to destruction. Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani.
11 We heard, our hearts melted, no courage left in anyone because of you, for the LORD your God is God in heaven above and earth below. Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.”
12 Now swear to me by the LORD: since I showed you kindness, show kindness to my father's house too. Give me a reliable sign, N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu
13 to spare the lives of my father, mother, brothers, sisters, and all who belong to them, and rescue us from death." nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.”
14 "Our lives for yours!" the men said to her. "If you do not report what we are doing, then when our Father gives us the land, we'll show you kindness and faithfulness." Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”
15 She lowered them by rope through the window, since her house was in the city wall—she lived in the wall. Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa.
16 She said, "Go to the hills, or pursuers will meet you. Hide there three days until they return, then go your way." Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.”
17 The men said to her, "We will be free from this oath you have made us swear, Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe
18 unless, when we enter the land, you tie this scarlet cord in the window you lowered us through, and gather your father, mother, brothers, and all your father's household into the house. era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna.
19 Anyone who goes out your house doors into the street—their blood is on their own head; we're clear. But if a hand touches anyone with you inside, their blood is on our head. Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe.
20 If you tell what we're doing, we're released from the oath you made us swear." Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.”
21 "Let it be as you say," she said. She sent them off; they left, and she tied the scarlet cord in the window. Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa.
22 They went into the hills, stayed there three days until the pursuers returned. The pursuers searched the whole road and found nothing. Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa,
23 The two men turned back, came down from the hills, crossed over, reached Joshua son of Nun, and told him all that happened to them. ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda.
24 They told Joshua, "Our Father has surely given the whole land into our hands; indeed, all who live there are melting away in fear before us." Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]